TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Abadde acanga abasajja babiri bamutwalidde ku mudumu gwa mmundu!

Abadde acanga abasajja babiri bamutwalidde ku mudumu gwa mmundu!

Added 30th March 2016

MATIYA yasoose kukwata ku mutwe nga bimusobedde! Olwo yabadde alondodde mukazi we Allen Kamaali n’amusanga mu muzigo e Kinaawa - Nsangi ng’ali mu buliri n’omusajja omulala.

 Allen ng’atwalibwa ku poliisi

Allen ng’atwalibwa ku poliisi

MATIYA yasoose kukwata ku mutwe nga bimusobedde! Olwo yabadde alondodde mukazi we Allen Kamaali n’amusanga mu muzigo e Kinaawa - Nsangi ng’ali mu buliri n’omusajja omulala.

Mu kulondoola omukyala, Matiya Ssentongo yasimbudde Nalukolongo w’abeera n’akwatagana ne poliisi y’e Nateete ne balumba Kinaawa gye yabadde ateebereza mukazi we.

Matiya yalumirizza mukazi we nga bw’aludde ng’abacanga n’omusajja omulala Ambrose Kimbowa.

Matiya ne Kimbowa baalidde matereke nga Matiya agamba nti, “Omukazi ono wange, nnayanjulwa mu bazadde n’ebbaluwa nzirina era kati ggwe musiguze”.

Kyokka ne Kimbowa yazzizza omuliro nti, “Okwanjula ssi nsonga naye omukazi gw’onsanze naye mmulinamu omwana era twagalana.” Baalinze ekigambo ekiva mu Allen era nga n’okukimba akimba yayogedde mpolampola nti:

Matiya oyo gwe mulaba nnamukoowa era ne nkimutegeeza; simanyi lwaki annemerako ate nga twakkaanyizza buli omu alekere munne emirembe. Nkyali muwala muto, Matiya leka kunzitira ffuuca…..(future ekitegeeza ebiseera eby’omu maaso). Allen wa myaka 22 ate Matiya alina 36.

 

Allen yagambye nti okwanjula Matiya mu bakadde yakikola lwa butaagaane kubanga yali afunye olubuto ate nga tayagala kuzaalira ku luggya.

Kimbowa n’omwana

Yakimutegeezezza nti n’omwana gw’abadde alowooza nti wuwe, wa Kimbowa era abaleke mu ddembe. We baayanjulira nga February 28, 2015, Kimbowa yali agenze ku kyeyo era olwakomyewo ne battukiza omukwano ne Allen ekyatabudde Matiya n’atwala n’omusango ku poliisi y’e Nateete ku fayiro SD 53/23/ 02/ 2016 ng’alumiriza Allen okumutiisatiisa okumutta nga yeekobaanye n’omusiguze Kimbowa.

MATIYA AYAGALA BAMULIYIRIRE OBUKADDE 20

Obugulumbo wakati wa Matiya ne Allen bubadde buludde era ku Lwomukaaga baalabikidde ku pulogulaamu ya Bukedde TV eya Taasa Amakaago ng’abazadde bagezaako okubatabaganya kyokka ne birema.

Mu busungu, Matiya yabadde ategeezezza bazadde ba Allen nti omukazi amumaze wabula n’awabulwa nti bwe bababuulirira Allen n’aleka Kimbowa basobola okudding’ana. Allen yabadde yeegaanye eky’okuddira Kimbowa nti abeera amusisinkana nga taata wa mwana ekyawalirizza Matiya okubalondoola eggulo n’abakwatira mu gumu ku mizigo gya Kibombo we bapangisa.

Matiya yagambye nti oluvannyuma lw’abazadde ba Allen okuwagira omusiguze, kati ayagala bamuliyirire obukadde 20 ze yakozesa mu kwanjula.

Ayagala Kimbowa amuliyirire ne ssente z’asaasaanyirizza ku mwana kubanga abadde akikola ng’alowooza wuwe kubanga yamutuuma n’amannya n’okumubatiza ng’alowooza afunye omusika.

Matiya yawa omwana erinnya Francis Ssegawa Mukisa kyokka ne Kimbowa naye n’amutuuma erinnya Adrian Malunda.

Kyokka Allen yagambye nti nga baakeefuna ne Matiya, yakimutegeerezaawo nti ali lubuto era n’amuwasa ng’akimanyi nti lwa musajja mulala.

Okumwanguyiza ku by’okwanjula nti omukazi ye yafuna ne ssente ezaakola ku by’okwanjula n’okusasula omutwalo n’aziwa Matiya era talina ky’abanja.

Allen ne Matiya lwe baabatiza omwana

 

Paul Kamaali e Mutundwe Kisigula nga ye taata w’omuwala yagambye nti ekigendererwa kya Matiya tekikyali kya kutaasa bufumbo wabula kufuna ssente kubanga akimanyi nti bazadde b’omuwala beesobola mu by’ensimbi.

Kimbowa yagambye nti yeewuunyizza poliisi okumukonkona ku ssaawa 8:00 ez’ekiro ekyakeesezza eggulo ng’emugamba nti ali ne mukaamusajja ate ng’omukazi gwe bamuvunaana akimanyi nti wuwe era bamaze mu bufumbo emyaka ebiri ne bafuniramu omwana omu.

Kyokka wadde Kimbowa yeewozezzaako, poliisi yamukutte ne Allen n’ebaggalira. Atwala poliisi y’e Nateete, Joseph Nsabimaana yagambye nti oluvannyuma lw’okwetegereza ensonga, yasazeewo bombi bayimbulwe ku kakalu ka poliisi kyokka baakusigala nga beeyanjula ku poliisi ku misango gy’obusiguze n’okutiisatiisa okutuusa obulabe ku Matiya.

Wabula ne Allen yalumirizza Matiya okumutiisatiisa okumukuba amasasi oba okumuyiira asidi amwonoone feesi.

Laba wano vidiyo nga bwe byabadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...