TOP

Amaze emyaka 40 ng'asera alaze ebitundu ebiwooma ku muntu!

Added 31st March 2016

Amaze emyaka 40 ng'asera alaze ebitundu ebiwooma ku muntu!

 Omu kubasajja agambibwa okubeera omusezi nga yeesibye amagumba g'abafu mu kiwato

Omu kubasajja agambibwa okubeera omusezi nga yeesibye amagumba g'abafu mu kiwato

EWAFFE tetukunja miti tukunja bantu!!mmaze nga nsera emyaka egikunukkiriza 40, mbadde sikyalya nnyama ya nte k'ebeere embuzi. Nkubuulire bw'oyiga okulya ennyama y'omuntu ewooma. Siyinza kukulimba naye abo abawaana embuzi abalala mbizzi, beerimba kuba ey'omuntu yagenda wala okuwooma.

Tumanyi n’ebitundu ebisinga okuwooma, era tusinga kukaayanira, kabina, ebbeere, n'ennyindo kubanga ebyo bye bisinga okuwooma ku muntu. Abasezi ku kyalo oba ku kitundu twemanya era tewali mufu gwe tufuna ne tutamugabana.

Bw’obeerako gw'ofunye obeera olina okumutemaatema n'oweerezaako banno ate tetulya muntu ayiseeko nnaku ssatu. Ekigambo kusera kizibu nnyo kubanga waliwo ne lwe weegomba omuntu omulamu ng'akuyitako n'oyiiya engeri gye tunaamulyamu.

Olumu waliwo omukazi gwe twegomba e Kawomya ne tumutega amaggwa n’agagwamu ne tumukwata ne tumutemaatema ne tumulya oyo gwe nasooka okulya nga mulamu.

ENGERI GYE BAZIIKU LA ABAFU

Omuntu atali musezi yeebuuza engeri omufu gy'ava mu ntaana n'esigala nga temogose naye ekyo si kizibu. Buli musezi alinnyako ekitambo afuna akati akawongebwamu eddagala era kano ke tukozesa ng'omusezi yenna atuuse ku ntaana omwaziikiddwa omuntu.

Kano tukakoona kungulu ku ntaana ku ludda awaatunudde omutwe nga bwe tulaamirizaako ebigambo nti ‘golokoka tugende’ nze nga ntandika okutambula. Eby’okusera tebyetaagisa maanyi, waliwo eddagala lye tuyita mukembya, lino tulikozesa okutambuza omufu okumuggya mu ntaana n’ajja ng'akugoberera bw’abuukabuuka n'embugo ze!

Tetukwata ku muntu okumuggya ku ntaana gye yaziikibwa, ye ajja atugoberera yekka okutuusa nze gye njagala okumutwala era olutuuka awaka mu kifo we tusobola okumubaagira ng'agwa awo.

Mu ffe tulinamu ababaaga nga bw’olaba mu lufula era bano be bakola kwekyo. Bw'omanya nti oli musezi omanya buli mufu w’ali era twetaba ne mu kuziika okumanya abafu ku byalo oluusi ne tuyambako ne mu kusima entaana okumanya obuwanvu ne mu kuziika okumanya omutwe gye gutunudde.

Omusasi okunoonyereza ku basezi kiddiridde ebbiina ly'abantu abaategeezezza nti basezi abaagenze mu kkanisa ya Synagogue ewa Nabbi Samuel Kakande ku Bbiri nga baagala abasabire ekitambo kibaamuke. Mu baagenze ewa Kakande mwe mwabadde ne musajjamukulu Ssande Mukasa 65. Abaalabye katemba ono baasigadde tebamatidde era bangi baakiyise kya Bobi Wine (ekiwaani).

Mukasa abeera ku kyalo Bukeeka e Kayunga gye yaddukidde oluvannyuma lw'okugobwa e Bukunja gy’abadde awangaalira n’atunnyonnyola bwati; Simanyi na bwe mbinyumya kubimalayo kubanga sisobola na kukubuulira muwendo gwa bafu be ndidde mu bulamu bwange kubanga ekitambo bwe kikulinnya, bw'obeera tolidde ku nnyama ya muntu owulira ng’amalusu n'ekyoyooyo tekikuggwaako.

 Ekitambo bwe kikulinnya tomanya na ngeri gy'ofuluma nnyumba, ne bw’ogamba nti weesibe emiguwa tomanya ngeri gy'ogivaako olw'amaanyi amangi g'obeera nago. engeri gye nafuuka omusezi Nga tekinnakukwata osooka n'okankana wenna omubiri, ekiddirira toddamu kutegeera era ekiddirira kweyambulamu ngoye, n'odduka okwolekera ku malaalo gonna we baba baaziise omuntu.

Ne bwe babeera baaziise mu mayiro 10, tomanya ngeri gy’otuukayo. Nze saazaalibwa nga ndi musezi naye ekitambo kyava bukojja. Maama wange Elizabeth Zabeeti ewaabwe baali basezi kkungwa era ng'ekitambo kijja kitambulira mu famire yaabwe naye ffe twali tetumanyi.

Olumu omuntu wa famire ya bamaama yagenda n'afa ne balonda maama okumusikira, kyokka ky’ataamanya nti gwe yasikira yali musezi ng'aliko empewo z’ekika kyonna. Mu kumusumikira empewo z’ekika zonna zaamukkako.

Mu kiseera ekyo nali mpeza emyaka 20 nga nazimba ennyumba yange ku lusebenju ku kibanja kya kitange Mukasa Musini era maama olwava mu lumbe, olubugo n'effumu bye baamusumikira yabiwummuza mu nju yange ne simanya nti ekitambo mwe kyali kijjidde.

Okuva olwo ekitambo kyatandika okunsumbuwa era bwe naweza emyaka 25, nawasa omukyala wange eyasooka naye olw’okuba nali hhaanyi okugondera ekitambo bye kyali kyagala ntuukirize, mukyala wange buli mwana gwe yazaalanga ng'afa.

Nneekuba ku maama ambuulire naye yakomanga ku kuwuuna nga tambuulira kituufu okutuusa lwe nasalawo okwetambulirako. Bwe natambulako gye bantegeereza nti waliwo ekitambo ky'obusezi ekyali kiyingidde mu famire yange era nga kirina obulombolombo bwe kyagala ntuukirize.

Engeri gye nali nabiwulirako edda ku muliraano ekyalo kiramba baakibbulamu n'erinnya lwa musajja Kawuulu kulya muwala eyayitibwanga Daliya, saatya nnyo naye ne nsigala nga nneebuuza engeri gye nakifunamu kubanga famire yaffe twali tetuserangako.

Nali nkyabiyita bya mannyowenu, natandika mpola omubiri ne gwecanga buli kiro nga lwe mba hhenze okuziika ku kyalo oba ku byalo by'omuliraano nga nayo ekintu kyagala okukwantirayo era tewaayita kiseera kiwanvu ne ntandika okufulumanga ekiro.

ABAZZE BALII BWA ABASEZI

Mu 2014 ku kyalo Kaliro mu ggombolola y’e Kyalulangira e Rakai, abasezi baakwata omukazi n’omwana we ow’emyezi omwenda bwe baabataayiza mu lusuku ekiro ne babasalaasala ne babalya.

Omukazi gwe baalya ye Peace Arinaitwe Kyomukama n’omwana we Kamuniini ow’emyezi omwenda oluvannyuma Deus Gabudyeri 25 yategerekeka nti yeyali Bba womukyala oyo. l Era mu mwaka gwe gumu abantu 13 baabakwata mu disitulikiti ye Rakai lwakutemula mukazi owoolubuto ne bamulya.

Mityana abafu abasoba mu bataano baloopeddwa nti basimuddwa okuva mu ntaana zaabwe nga kirowoozebwa nti abasezi baabalya . l E Kasese mu 2014, poliisi yakwata abantu babiri lwa busezi obw’okulya abantu.

Mu May wa 2004, abatuuze basatu ab'oku kyalo kinvuunikidde e Bbuye mu muluka gw'e Kikundu abatuuze basatu baakwatibwa lwa kulya bafu.

Ssentebe w’eggombolola ye Rugaaga, Mathias Tushabomwe gye buvuddeko yagambye nti mu ggombolola ye naddala ku kyalo Katooma, nti baakutte abasezi abawera kyokka n’agamba nti babeera n'obukono bw’abaana wabula ne yeebuuza gye babuggya

Yayongerako nti kino kye kimu ku byalo ebisingako abasamize ng'abasinga bava Rakai. Ebitundu ebirala kuliko Kasese, Bundibugyo, Kyenjonjo, Mityana n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....