TOP

Besweri Mulondo afudde akyawoza ogwa Ffedero

Added 6th April 2016

Besweri Mulondo afudde akyawoza ogwa Ffedero

 Omugenzi Besweri Mulondo.

Omugenzi Besweri Mulondo.

Besweri Mulondo 90, atuuse okufa ng’akyawoza omusango Abaganda gwe baamussaako okulemesa federo. Mulondo eyali Ssaabalangira wa Buganda yafiiridde mu International Hospital (IHK) e Namuwongo eggulo.

Amaze ekiseera ng’abeera mu kagaali oluvannyuma lw’okusannyalala. Mutabani we George Kimbugwe yategeezezza nti yassizza ogwenkomerero ku ssaawa 10 ez’olweggulo. Amaze ennaku ssatu ng’ali ku kyuma ekimuyamba okussa.

Yasembyeyo kubeera ku mbaga eyamutegekeddwa abaana n’abazzukulu nga March 12, 2016 okujaguza emyaka 90.

OKUSALAWO KU FEDERO Y’omu ku basajja abakoleredde ennyo Buganda ne Uganda.

Yali w’amaanyi okutuusa mu July 1995 ku ntikko y’okubaga Konsitityusoni. Olukiiko lwa CA lwali luteesa ku kiteeso ky’okuzzaawo federo ekyaleetebwa John Eresu okuva Kaberamaido.

Mmengo yasooka kutokota babaka mu CA okuwagira ekiteeso kino ng’ekigendererwa kwe kufuna abakiwagira okuva mu bitundu by’eggwanga lyonna. Mu bano mwe mwali ne muganda wa Milton Obote, ayitibwa Adoko Nekyon eyayimirira n’ayogerera essaawa nnamba okumatiza banne Buganda efune federo.

Ekiteeso kya Eresu ky’afuna obuwagizi bw’amaanyi mu ba DP ne UPC abaali mu CA kyokka nga NRM nayo ekoze kakuyege waayo ng’ababaka tebakiwagira. Mulondo bwe yasituka okwogera Obuganda bwonna bwali bumutunuulidde okukiyisaamu ng’omuntu w’omunda. Mu kiseera ekyo ye yali Ssaabalangira wa Buganda, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda era Minisita w’Ebyettaka n’Ebyobulimi.

era gy’ajja okuziikibwa. Kabaka n’omulangira Besweri Mulondo.

 N’agamba: ensonga za federo bannange “Ssemusota guli mu ntamu”, Ffe ng’Abaganda bwe tugisaba batugamba nti tusosola mu mawanga. Ate bwe tugamba nti kale Uganda yonna efune federo ng’ate batugamba nti lwaki tukakaatika enfuga eno ku bantu abatagyettanira. Yawunzika awakanya federo ng’agamba nti abaleese ekiteeso tebakikoze mu mwoyo mulungi kubanga basajja ba UPC abaggyawo federo.

Eresu eyaleeta ekiteeso naye yali wa UPC wadde nga kati yafuuka wa NRM. Ebya federo awo we byafiira mu lukiiko olwakubirizibwa James Wapakhabulo. EBYAVA MU KUSALAWO Aba NRM, baatendereza Mulondo okubeera Mwoyo gwa ggwanga kyokka ab’e Mmengo n’Abaganda abasinga ne bamukyawa kubanga federo gye yatemerako ettaka baali bagiyaayaanira okuva mu 1967, Obote lwe yawera obwakabaka nga basuubira nti olukiiko lwa CA gwe mukisa gwe balina Buganda okuddamu okugifuna.

Waayita mbale Mulondo n’alekulira Obwassaabalangira n’Obwaminisita e Mmengo era olukiiko lwa CA yalumalako takyayala olwa buli muntu naddala abaali bettanira federo okumwogerera amafuukuule n’okukunga Obuganda okumuboola. Okuva olwo okutuusa lw’afudde abadde akyawoza gwa federo, ng’alaga bwe yawonya Buganda n’eggwanga okugwa mu katego k’aba UPC.

Yawandiika ekitabo ku bulamu bwe n’annyonnyola ebyaliwo mu CA ne lwaki yawakanya federo gye yali aludde ng’alwanirira. CA bwe yaggwa, Pulezidenti yamulonda okubeera ssentebe w’akakiiko k’Ebyettaka mu ggwanga okutuuka mu 2000.

Pulezidenti n’amulonda okubeera omuwabuzi we ku nsonga z’ettaka, ekifo ky’abaddemu okutuusa w’afiiridde. Mulondo, yazaalibwa March 12, 1926 Bwe yali tannagenda mu lukiiko lwa CA, yasooka kubeera mmemba wa Palamenti (NRC) mu 1989 n’akola nnyo ku kakiiko akaali kalondoola ensasaanya y’ensimbi za Gavumenti.

Yaliko omumyuka wa Minisita ow’Ebyobulimi mu gavumenti ya Pulezidenti Museveni era yali mmemba w’akakiiko aka Benjamin Odoki akaakuhhanya ebirowoozo bya Konsitityusoni. Obuweereza bwe Mu gavumenti ya Godrefy Binaisa , Mulondo yalondebwa okukulira akakiiko k’ebyettaka mu ggwanga kyokka ekifo teyakibugumya, n’akivaamu nga Obote afuuse Pulezidenti oluvannyuma lw’okulonda kwa 1980.

Ebbanga lyonna Obote II lye yali mu buyinza, Mulondo yali mu buwanguse e Nairobi mu Kenya. E Kenya gye yasisinkana Dr. Samson Kisekka. Wakati wa 1984 ne 1985 ng’olutalo lwa NRA lunyinyitidde, Omulangira Ronald Mutebi, yayitira e Nairobi ng’agenda mu nsiko okuzzaamu amaanyi abalwanyi ba NRA era Mulondo y’omu ku baamwaniriza.

 

Pulezienti Museveni bwe yawamba obuyinza, Mulondo yadda mu ggwanga mu March 1986 ku nnyonyi y’emu ne Dr. Kisekka. Nga tannayingira byabufuzi, yasooka kulondebwa okubeera ssentebe wa Lint Marketing Board (LMB).

Kyokka mu kitabo kye agamba nti yasisinkana Ssaabasajja n’amunnyonnyola ebyali emabega w’ekiteeso kya federo ne lwaki yakiwakanya era Ssaabasajja n’amusonyiwa. Abadde yawummula ng’ali mu maka ge e Kyankowe- Mityana era gy’ajja okuziikibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...