TOP

Embeera y'omuyimbi Chandiru yeeraliikiriza: Afuukuuse olususu

Added 7th April 2016

Chandiru eyayimba Gold Digger, aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde obumuyisizza obubi ennyo era yasooka kuweebwa kitanda Mulago wabula bwe kyazuulwa nti alina ebiragalalagala ebirala mu musaayi, abasawo ne bamuweereza mu Bunnamwaya Rehabilitation Centre okubudaabudibwa nga bw’aweebwa obujjanjabi obulala.

 Chandiru nga bw'afaanana kati. Wakati bye biragalaragala by'agambibwa okukozesa. EBIFAAANYI BYA ERIA LUYIMBAZI

Chandiru nga bw'afaanana kati. Wakati bye biragalaragala by'agambibwa okukozesa. EBIFAAANYI BYA ERIA LUYIMBAZI

OMUYIMBI Jackie Chandiru yabadde ku ndiri ne bamutegeeza nti: Landiroodi atabuse, ebintu byo abikasuse ebweru.

Chandiru eyayimba Gold Digger, aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde obumuyisizza obubi ennyo era yasooka kuweebwa kitanda Mulago wabula bwe kyazuulwa nti alina ebiragalalagala ebirala mu musaayi, abasawo ne bamuweereza mu Bunnamwaya Rehabilitation Centre okubudaabudibwa nga bw’aweebwa obujjanjabi obulala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti Landiroodi abadde aludde ng’abanja Chandiru ssente z’obupangisa wabula nga bamusaba agumiikirize olw’embeera omuntu waabwe gy’alimu.

Enju Chandiru mwe baamugobye.

Ennyumba mwe baamugobye eri Bukasa okumpi ne Muyenga. Mu nnyumba mubadde mubeeramu abooluganda lwa Chandiru okuli n’ababadde bamulabirira mu malwaliro era beeyongeddeyo mu b’eng’anda zaabwe abalala n’ebintu by’omulwadde. Wabula bagamba yasasudde ne bamuleka.

POLIISI EKUTTE ABADDE AMULEETERA EBIRAGALA

Poliisi yategeezezza nti mu kasattiro akaabaddewo ak’okugobwa mu nnyumba, omuvubuka Bob Mugarura we yafunidde omukisa oguleeta ebiragalalagala eby’ekika kya Daye pharm n’abiwa Chandiru ate olwo embeera y’omuyimbi ono n’etabukira ddala.

Chandiru ng'alaga olususu olufuukuuse

 

Kino ky’ekyawalirizza ab’eddwaaliro okuyita poliisi eyakoze okunoonyereza n’ekwata Mugarura n’emuggulako omusango gw’okusaasaanya ebiragalalagala oguli ku fayiro SD REF:66/31/03/2016.

Onyango yagambye nti bakyanoonyereza ku Mugarura n’ebiragalalagala by’abadde awa Chandiru.

Onyango yagambye nti baazudde obucupa 12 obw’ebiragalalagala (ebitabula obwongo okufaananako enjaga) era nga yaakakozesaako obucupa musanvu.

 

Chandiru bwe yali afaana ne bw'afaanana kati

 

Chandiru yaliko muganzi wa looya w’omu Kampala Caleb Alaka kyokka ate alina enkolagana n’Omuzungu Nolvan Vliet enzaalwa y’e Budaaki.

Okuyimba yakutandikira mu Blue3 mwe yava ne yeetengerera era ayimbye ennyimba n’abayimbi ab’amaanyi okuli Chameleone ne Ssemakula.

........................................................................................................................

Ebirala ku Chandiru

........................................................................................................................

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...

Ssentebe Mugabi (wakat)i ng’asala keeki n’abamu ku bannamawulire abasakira Mu Greater Masaka.

Ssentebe w'e Rakai asiibudd...

Ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, Robert Benon Mugabi  asiimye bannamawulire abakolera mu Greater Masaka n'agamba...

▶️ Obubonero bw'alwadde eki...

Obubonero bw'alwadde ekiyongobero Wano mu Buganda abakazi balowoozebwa okubeera abagumu mu buli mbeera, era...

Weetegereze bino ng'onoolunda embuzi.

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oya...

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oyawulamu ebika by'embuzi ez'enjawulo.