TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Polof. Ddumba ne Mamdani bawanyisiganyizza ebisongovu ku bya Dr. Stella okweyambula

Polof. Ddumba ne Mamdani bawanyisiganyizza ebisongovu ku bya Dr. Stella okweyambula

Added 19th April 2016

OMUMYUKA wa Cansala wa Makerere Polof. John Ddumba Sentamu awaanyisiganyizza ebisongovu ne Polof. Muhamood Mamdani akulira Makerere Institute of Social Research (MISR).

 Polof. Ddumba ku kkono, wakati ye Dr. Stella Nyanzi ate ku ddyo ye Polof. Mamdani

Polof. Ddumba ku kkono, wakati ye Dr. Stella Nyanzi ate ku ddyo ye Polof. Mamdani

OMUMYUKA wa Cansala wa Makerere Polof. John Ddumba Sentamu awaanyisiganyizza ebisongovu ne Polof. Muhamood Mamdani akulira  Makerere Institute of Social Research (MISR).

Mamdani afulumizza ekiwandiiko ng’agamba nti Ssentamu tasaanidde kuteekawo kakiiko kubuuliriza kubanga alina kyekubiira kubanga Dr. Stella Nyanzi eyeeyambudde eggulo walugandalwe.

Ddumba amwanukudde n’ategeeza nti tayinza kwegaana Nyanzi kubanga yeddira Mbogo nga ye era kyeyakoze tekiyinza kuwaliriza Ddumba kuva mu kika kya Mbogo.

Dr. Stella Nyanzi ng'ali mu ofiisi eyagguddwa ku Mmande oluvannyuma lw'okweyambula n'asigala bute. Ebifaananyi bya Benjamin Ssebaggala

 

Ayongedde n’amulabula nti alina okutegeeza nti ye (Ddumba) y’akulira Makerere awasangibwa ettendekero Mamdani ly’akulembera.

Polf. Mamdani ategeezezza nti Polof. Ddumba yennyini asaana kunoonyerezaako kubanga enteekateeka ze zikotoggera enkola y’okusomesa ddiguli ya PhD ku MISR n’okulemesa okuzza obuggya kontulakiti ye akagaba emirimu gya yunivasite emabegako.

Polof. Mamdani ayagala Dr. Nyanzi akyusibwe okuva ku MISR bamutwale awalala, okuteekawo akakiiko akabuuliriza Polof. Ddumba aleme kukabeeramu na mukono  kubanga alina oludda, Dr. Nyanzi asooke asindikibwe mu luwummula lwa mwezi mulamba ng’okunoonyereza kugenda mu maaso.

Dr. Stella Nyanzi ng'ali mu ofiisi eyagguddwa ku Mmande oluvannyuma lw'okweyambula n'asigala bute. Ebifaananyi bya Benjamin Ssebaggala 

Dr. Nyanzi agamba nti eno ye ngeri yokka gye yabadde ayinza okwerwanako kubanga awandiikidde abakulu nga tebamuyamba so ng’anyigirizibwa.

Ayongerako nti mwetegefu okulabika mu kakiiko akakwasisa empisa singa bamuyita bw’abeera alina omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu