TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Poliisi ekutte maneja w'abayimbi ku by'omwana eyasaliddwaako omutwe mu bya Illuminati

Poliisi ekutte maneja w'abayimbi ku by'omwana eyasaliddwaako omutwe mu bya Illuminati

Added 28th May 2016

MANEJA w’abayimbi, Jeff Kiwanuka akwatiddwa poliisi okuyamba mu kunoonyereza ku by’omutwe gw’omwana gwe baasanze n’omuvubuka mu kisawo.

 Omwana eyattiddwa. Jeff Kiwanuka eyakwatiddwa.

Omwana eyattiddwa. Jeff Kiwanuka eyakwatiddwa.

MANEJA w’abayimbi, Jeff Kiwanuka akwatiddwa poliisi okuyamba mu kunoonyereza ku by’omutwe gw’omwana gwe baasanze n’omuvubuka mu kisawo.

Herbert Were, 21, ow’e Lumino, Busia baamusanze n’omutwe gwa muto we Joel Ogema era n’annyonnyola nti yabadde agutwalira abasajja abaagumutumye asobole okufuna obugagga mu kabinja ka Illuminati.

Obumu ku bubaka Were bwe yalaze poliisi bwamuweerezeddwa ku ssimu omuntu eyeeyise Maneja w’abayimbi, Jeff era nga bulagirira Were ebbaala ya Dejavu e Kabalagala w’aba asanga abaamutumye omutwe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti baakutte Jeff ayambeko mu kunoonyereza ku bubaka obuzze buweerezebwa wakati w’abeeyita aba Illuminati nga bakozesa erinnya Jeff ne Were.

Okukwata Jeff kwaddiridde ekiragiro ekyaweereddwa Dayirekita wa Crime Intelligence Ndahura Atwooki era n’ayitibwa ku kitebe ekinoonyereza ku misango egy’amaanyi ekya SIU e Kireka era we yasuze. Baamukutte ku Lwakuna.

Were yannyonnyodde poliisi nti abeeyita aba Illuminati baasooka kumusaba 40,000/- ez’okwewandiisa n’azibaweereza ku Mobile Money; ne bamusaba 30,000/- nazo n’aziwa era ekyaddako kumusaba mutwe gwa muganda we gw’asinga okwagala, kwe kukwata Joel abadde asoma P.2 mu Lumiino P/S n’amusalako omutwe ekiwuduwudu n’akisuula mu mugga Namasere mu Busia.

Omutwe yagutadde mu kisawo n’ajja nagwo e Kampala kyokka ne bamukwatira e Kajjansi ku Lwokusatu ng’eyo gye yabadde asuze oluvannyuma agende ku Dejavu.

Were (ku mpingu) ng’atutte poliisi we yasudde ekiwuduwudu.

 

Poliisi ekyagenda mu maasio n’okunoonyereza ku nnamba z’essimu abasajja abeeyita aba Illuminati ze babadde baweereza Were era ezimu ku zino kwe yaweerezza ne ssente (Mobile Money) ez’okwewandiisa mu kibiina kino.

Ebbaala ya Jeff we waafiira ne AK47

Emu ku nnamba zino y’eyo eyakozeseddwa okusindika obubaka obutegeeza Were nti abasisinkane ku bbaala ya Maneja Jeff Kiwanuka eya Dejavu e Kabalagala.

Ebbaala eno ya Jeff Kiwanuka era we waafiira omuyimbi AK47 (Emmanuel Mayanja) bwe yagwa mu kinaabiro n’akuba omutwe ku ttaka n’afiirawo.

Ennamba endala poliisi z’eyagala okukozesa mu kuyambako okunoonyereza z’ezo Were ze yasembyeyo okukubako era nga yazikubyeko enfunda eziwera.

Yatuuse n’okukozesa essimu ya mukwano gwe Isaac Ocheing (eyamusuzizza e Kajjansi) okukuba ku nnamba zino, ng’essimu ya Were eweddeko Airtime.

Ku nnamba zino kuliko 0785860338 eyawandiisibwa mu mannya ga Rose Nassali ne 0776068874 eyawandiisibwa mu mannya ga Moses Bbarasa.

Poliisi erowooza nti bannyini masimu gano bayinza okuyambako mu kunoonya abeeyita aba Illuminati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...