TOP

Loodi Meeya Erias Lukwago alayidde

Added 6th June 2016

EBBANGA ery’emyaka ebiri n’ennaku 67 Erias Lukwago ly’amaze ku muggalo mu KCCA kyaddaaki likomekkeerezeddwa leero, Lukwago bw'alayiziddwa ku kisanja ekyokubiri nga Loodi Meeya wa Kampala ayingire ofiisi ye gye yakoma okulinnyamu ekigere nga March 31, 2014.

 Loodi Meeya Erias Lukwago ng'atuuka ku kitebe kya City Hall mu Kampala. EKIF: TONNY RUJUTA

Loodi Meeya Erias Lukwago ng'atuuka ku kitebe kya City Hall mu Kampala. EKIF: TONNY RUJUTA

EBBANGA ery’emyaka ebiri n’ennaku 67 Erias Lukwago ly’amaze ku muggalo mu KCCA kyaddaaki likomekkeerezeddwa leero, Lukwago bw'alayiziddwa ku kisanja ekyokubiri nga Loodi Meeya wa Kampala ayingire ofiisi ye gye yakoma okulinnyamu ekigere nga March 31, 2014.

Ennaku zibadde zeekulungudde 797 bukya Omulamuzi Steven Kavuma afulumya Lukwago mu ofiisi ku City Hall nga March 31, 2014, bwe yali tannabugumya na ntebe ng’azzeeyo mu ofiisi mwe yali afuumuddwa nga November 25, 2013, bakansala lwe baamuggyamu obwesige wakati mu Bannakampala okwemulunya nti gavumenti yazimuula ekiragiro kya kkooti.

Essaawa zigenze okuwera 6:00 ez’omu ttuntu olwaleero ku Mmande, Lukwago ne Bakansala ba KCCA 34 bakubye ebirayiro okutandika ekisanja kyabwe eky’emyaka ettaano ekinaakomekkerezebwa mu 2021.

Bameeya ba munisipaali za Kampala ettaano; Central, Nakawa, Kawempe, Lubaga ne Makindye ne bakansala baabwe nabo baakulayizibwa olwaleero okutandika n’essaawa 8:00 ez’olweggulo.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju ategeezezza nti abakulembeze abagenda okulayizibwa olwaleero basoba mu 250.

Lukwago yategeezezza nti olumala okulayizibwa, agenda kutandikirawo emirimu gya Kampala nga waakutuuza Kanso ayanjulire ba Kansala n’abakungu ba KCCA, Pulogulaamu ye ey’okugogola ekibuga n’okutereeza ebisobye mu bbanga ly’amaze nga tali mu ofiisi.

Okudda kwa Lukwago mu ofiisi kwabadde kwa mbirigo olw’emiziziko n’emisanvu egya kkooti, Poliisi ne Jennifer Musisi gy’azze asanga buli lwabadde agezzaako okuddamu.

Wabula eky’amaze eggobe mu kibya kwe kulonda kwa February 24, 2016, Lukwago kwe yazzeemu okuwangula ekisanja ekyokubiri nga Loodi Meeya wa Kampala.

Lukwago yawangulide waggulu n’obululu ebitundu 80 ku 100 nga yafunye obululu 176,637 n’amegga omuyimbi Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raggae Dee owa NRM eyafunye obululu 46,366, Issa Kikungwe owa DP n’asemba n’obululu 7,759.

Okulayizibwa kwa Lukwago ne ba Meeya ba munisipaali za Kampala kuzze kwongezebwawo olw’ensonga ezitali zimu omwabadde n’okukyala kw’abakulembeze owa South Korea n’owa Park Geun-Hye n’owa Turkey Recep Tayyip Erd

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...