TOP
  • Home
  • Agawano
  • Emmotoka zitomereganye ku lw'e Masaka ne zikwata omuliro

Emmotoka zitomereganye ku lw'e Masaka ne zikwata omuliro

Added 11th June 2016

MMOTOKA zitomereganye ku lw’e Masaka ne zikwata omuliro ne zisaanawo, abantu basatu abaafunye ebisago ne batwalibwa mu ddwaaliro.

 Emmotoka nga ziteta mu luguudo.

Emmotoka nga ziteta mu luguudo.

MMOTOKA zitomereganye ku lw’e Masaka ne zikwata omuliro ne zisaanawo, abantu basatu abaafunye ebisago ne batwalibwa mu ddwaaliro.

Akabenje kano kaagudde Nsimbe wakati wa Maya ne Nakirebe ku lw’e Masaka, mmotoka ya Canter nnamba UAT 028C ebadde esomba amayinja bwe yatomereganye n’emmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Mark II nnamba UAU 965Z ebadde eva e Kampala ng’edda e Masaka okukkakkana nga zombi zikutte omuliro mu luguudo wakati ne ziteta ne ziggwawo ekyasannyalazza ebyentambula okumala essaawa bbiri nnamba ku Lwokutaano.

Akabenje okugwawo kiddiridde abaabadde baddaabiriza oluguudo luno okusima ekinnya mu kifo kino era ddereeva wa Canter eyategeerekeseeko erya Fred n’akyekanga wabula mu kugezaako okukiwugula n’esanga Mark II ne zambalagana.

Abaasimattuse kuliko; ddereeva wa mmotoka ya buyonjo, Deo Masereka omutuuze w’e Kitende, eyatwaliddwa mu ddwaaliro lya St. Monica e Katende ng’amenyese okugulu, omugoba wa Canter Fred ne gwe yabadde naye nga bagenda mu kirombe ky’amayinja, nabo baatwaliddwa mu ddwaaliro.

Poliisi y’e Mpigi ng’ekulembeddwaamu omuduumizi waayo, SP Ahmed Kimera Sseguya yatuuse mu kifo kino mu budde kyokka nga tebalina bikozesebwa kuzikiriza muliro era emmotoka zonna zaayase ne zisaanawo nga poliisi etunula.

Kimera yagambye nti akabenje kaavudde ku bagoba ba mmotoka zino okuvugisa ekimama era n’asaba abagoba b’ebidduka bonna okukendeeza endiima ku luguudo luno.

Kyokka abatuuze omusango baagutadde ku baakola oluguudo okukola gadibengalye ne batuuka n’okulukuba ebiraka nga lwakaggwa.

Basabye abakulira poliisi okubafunira mmotoka ezikiriza omuliro mu kitundu kye Mpigi kuba obubenje bw’omuliro buyitiridde kyokka ng’abazimyamwoto bava Kampala nebasanga ng’ebintu by’abantu bisaanyeewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...