TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nadduli afuuye Oluzungu ng'alayira n'asesa Pulezidenti Museveni

Nadduli afuuye Oluzungu ng'alayira n'asesa Pulezidenti Museveni

Added 22nd June 2016

HAJJI Abdul Nadduli ye Minisita asinga okwagalibwa era ye yasinze okukwata banne omubabiro ku mukolo bonna 74 kwe baalayiziddwa mu maka g’Obwapulezidenti olunaku lw’eggulo.

HAJJI Abdul Nadduli ye Minisita asinga okwagalibwa era ye yasinze okukwata banne omubabiro ku mukolo bonna 74 kwe baalayiziddwa mu maka g’Obwapulezidenti olunaku lw’eggulo.

Nadduli olwasomye erinnya lye abaabaddewo ne bakuba enduulu n’okuyimirira nga baleekaanira waggulu.

Pulezidenti Museveni naye yasese nnyo n’aggyayo n’akatambaala n’asangula amaziga olw’engeri Nadduli gye yabadde afuuwa Olungereza nga temuli nsobi yonna.

Bwe yamaze okulayira minisita w’amakolero Ameria Kyambadde n’amugwa mu kifuba nga bw’amutegeeza nti, mwannyinaze kulika Olungereza.

Obwedda abantu bakuba Nadduli olwogoolo n’okumukuba olwali nti ekintu okikoleredde nnyo kye kiseera naye akiryemu.

Bakira buli mubaka asisinkana munne ng’amugwa mu kifuba. Bangi bazze ne bakyala baabwe ate n’abakyala ne bajja n’abaami baabwe era mwabaddemu abaabaddemu katemba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...