TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti ettukizza eby'obuyigize bwa Haji Muyanja Mbabaali

Kkooti ettukizza eby'obuyigize bwa Haji Muyanja Mbabaali

Added 25th June 2016

OMUBAKA wa Palamenti owa Bukoto South Haji Muyanja Mbabaali byandimwononekera Kkooti Enkulu e Masaka bw'ekkirizza gwe yawangula Gertrude Nakabira okuddamu okuwaaba omusango ogw’obutaba n’abuyigirize bumusobozesa kugenda mu Palamenti.

 Hajji Muyanja Mbaabali ng'ali n'abawagizi be

Hajji Muyanja Mbaabali ng'ali n'abawagizi be

OMUBAKA wa Palamenti owa Bukoto South Haji Muyanja Mbabaali byandimwononekera Kkooti Enkulu e Masaka bw'ekkirizza gwe yawangula Gertrude Nakabira okuddamu okuwaaba omusango ogw’obutaba n’abuyigirize bumusobozesa kugenda mu Palamenti.

Nakabira yatwala Mbabali mu kkooti e Masaka n’ekigendererwa eky’okumulemesa okwewandiisa okulondebwa ku kifo kino kyokka omwezi oguwedde omulamuzi John Keitirima n'agugoba ng’agamba gwali guyitiddwaako era bwatyo n’amulagira okuliyirira Mbabaali.

Bwe yali awa ensala ye ku musango guno, omulamuzi Keitirima yategeeza nti, Mbabaali yali yamala dda okwewandiisa, okulondebwa noolwekyo omusango gwa Nakabira gwali tegusobola kugenda mu maaso.

Kino kyawaliriza Nakabira okujulira ng’ayita mu bannamateeka be Asuman Basalirwa baalaga obutali bumativu n’okusalawo kw’omulamuzi Keitirima.

Omusango gwali gwa kuwulirwa nga February 15, 2016, kyokka ne gutawulirwa kuba omulamuzi yali mu luwummula ekyawa Mbabaali omwagaanya okugenda mu maaso n’okulondebwa.

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Margret Tibulya yakkiriza baddemu okuwaaba era n’abawa wiiki emu yokka okulaba ng’oludda oluwawaabirwa luweereddwa empaaba.

Munnamateeka wa Mbabaali Caleb Alaka yagaanyi okubaako kyayogera ku kunsala ya kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...