TOP

Tamale alumirizza Tanga Odoi okulya enguzi

Added 29th June 2016

TAMALE Mirundi alumirizza Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM nti yalya enguzi n’akkiriza abantu abatalina buyigirize bumala okwesimbawo kati bali mu kuswaza kibiina nga baggyibwa mu palamenti.

 Mirundi ne Odoi

Mirundi ne Odoi

TAMALE Mirundi alumirizza Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM nti yalya enguzi n’akkiriza abantu abatalina buyigirize bumala okwesimbawo kati bali mu kuswaza kibiina nga baggyibwa mu palamenti.

Wabula Tanga odoi yamwanukudde n’agamba nti Mirundi byayogera si bituufu era ye ng’abwamanyi embeera ze ateekwa okuba nti ebyo yabyogedde atamidde.

Okuva kkooti lwe zaatandika okugoba ababaka abatalina biwandiiko mu palamenti, Mirundi omudumu n’agwolekeza Tang Odoi anti yalya enguzi nga buli muntu ne gwe yalabiranga ddala nga talina bisaanyizo ng’amuleka n’ayitawo kasita omuwa ekyoja mumiro.

Tanga yasinzidde ku Hotel ya Imperial Royal mu Kampala ku Mmande ku mukolo ogwategekeddwa aba Foundation for Human Rights Initiative nga bawa bye baazuula mu kulonda okuwedde n’ayanukula Tamale Mirundi.

“Abantu nga Tamale Mirundi abalemwa okugenda mu Klezia ne beemalira mu bbaala okunywa omwenge bateekwa okuva ku bye banywa bijja kubatabula emitwe” Tanga Odoi bwe yaggumizza.

Tanga Odou yagambye nti kikyamu Tamale okugenda ku ttivvi n’amutemerera ebigambo nti okuyisaawo ababaka ba NRM baamala kumuwa nguzi ng’abyayogera tabirinaako bukakafu bwonna.

Mu kulumiriza Tanga Odoi okuyisaawo ababaka abatalina biwandiiko, Tamale agamba nti ono yakozesa muwala we gwe yawa omulimu mu kakiiko k’ebyokulonda aka NRM mwe yayitanga okuggya ku baagala okwesimbawo enguzi.

Kyokka kino Tanga Odoi yakiwakanyizza n’agamba nti okukakasa nti Tamale by’ayogera tebiriiko mutwe n’amagulu, mu bulamu bwe tazaalanga ku mwana muwala era kino akyewuunya.

Kyokka Tamale yamwanukula nti Tanga Odoi obutaba na mwana muwala tekitegeeza nti talina muwala gw’ayinza kukozesa ddiiru.

Yagambye nti Tamale by’ayogera bya kitamiivu n’amuwa amagezi agende mu bbaala gy’abeera ayogerera.

Tanga agamba nti omusaala gw’afuna gumumala okumuyimirizaawo emyezi mukaaga nga tawankawanka era ye takontanangako na mmeeme ye kukemebwa alye enguzi.

Yategeezezza nti ensonga yazikwasizza Pulezidenti Museveni azikolako era singa teyazikwasizza Pulezidenti yabadde asobola okumwekolerako mu wiiki bbiri n’alagawo enjawulo kubanga amwesobolera.

Tamale Mirundi yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ebigambo bino yabadde abiwulira mulundi gusooka kyokka ye tasobola kwanukula kubanga si mulalu kuddawo kwererejja.

Yategeezezza nti tayagala kubinnyonnyola kubanga ne bw’abeera ng’abuliddwa ekifo w’aliira emmere tayinza kusalawo kutuula mu kaabuyonjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...