TOP
  • Home
  • Essomero
  • Abasomesa balaze engeri entuufu ey'okutegeka obubaga ku masomero

Abasomesa balaze engeri entuufu ey'okutegeka obubaga ku masomero

Added 4th July 2016

ABAYIZI okubeera n’obubaga ku masomero kya tteeka mu masomero agamu wabula oluusi engeri gye bukwatibwamu bufuuka bwa bulabe.

 Aba ba St. Joseph Naggalama nga baziniramu bannaabwe mu kabaga.

Aba ba St. Joseph Naggalama nga baziniramu bannaabwe mu kabaga.

JOSEPH ZZIWA

ABAYIZI okubeera n’obubaga ku masomero kya tteeka mu masomero agamu wabula oluusi engeri gye bukwatibwamu bufuuka bwa bulabe.

Ow’ebyamawulire mu minisitule y’ebyenjigiriza, Joseph Ngobi Ngabo agamba nti okusanyusa mu bayizi kya tteeka era kirambikiddwa bulungi mu lukangaga olugobererwa mu amasomero.

Olw’ensonga eno amasomero ga ddembe okusanyusa abayizi mu ngeri ey’enjawulo. Kikyamu obutasanyusa ku bayizi kubanga okusoma ebitabo byokka kikooya obwongo.

Minisitule terina kkomo ku bubaga ki bwandikoleddwa mu masomera na ngeri ki gye bulina kukolebwamu, wabula buba buvunaanyizibwa bw’abakulembeze b’essomero okulaba nti omuyizi asanyuka mu ngeri etakosa misomo gye.

Kyandibadde kirungi obubaga butegekebwe ku masomero kuba kiba kyangu okulondoola ebiba bigenda mu maaso.

Abayizi okuva mu nnasale okutuuka mu siniya baba n’obubaga obw’enjawulo ku masomero.

Mu bubaga buno mubaamu obw’amazaalibwa, okumaliriza emisomo gy’eddiini, okwaniriza abayizi abagya, okusiibula abayizi abamalirizza emisomo n’obwebibiina eby’enjawulo nga Interact club n’endala.

Obubaga buno bukolebwa mu ngeri ez’enjawulo okusinziira ku bategesi. Waliwo abasalawo okusala keeki okunywerako sooda ku bubaga bw’amazaalibwa.

Waliwo abagabula ekijjulo ky’emmere ne banywerako ne sooda ate waliwo n’abassaayo endongo.

Waliwo enkola y’abasomero okukyalira eddala abaziyi ne baba n’amazina ne babagabula n’ekijjulo.

Mary Kalyango owa Mengo SS: Wadde obubaga buyamba abayizi okuwummuza obwongo engeri oluusi engeri gye bukolebwamu evaako abayizi okuddirira mu kusoma.

Ebimu ku bireeta bino mulimu; Abayizi abamu bwe bamanya nti bajja kuba n’akabaga batandikirawo okulowooza ku biki bye banaayambala, gye banaabiggya, aw’okuggya ssente ate bwe kituuka ku bawala abaagala okuvuganya kiyitirira anti teri ayagala munne kumusinga.

Kino kivaako abamu okufuna amakubo amakyamu mwe banaggya ssente basobole okufuna bye baagala.

Mu kiseera ng’ekyo abamu eby’okusoma babivaako okutuusa ng’akabaga kawedde.

Ennyambala y’abayizi nayo eyinza okuleeta obuzibu. Abawala abamu bamanyi okwambala engoye ennyimpi abalala nga zitangaala oba okuba nga zibalaga ebitundu by’omubiri ebirina okubikkibwa.

Ennyambala embi yeesittaza abalenzi oluusi ne beesanga nga batandise enkolagana enkyamu. Kino kivaako okubabuzaabuza obwongo abamu ne baagalana ekiyinza okuvaako okufuna n’embuto n’endwadde,

Mulimu abayizi abayinza okuleeta ebitamiiza mu bubaga oluusi ne bakola ebitasaana. Oluusi mubaamu abayizi abalina emitima emibi.

Mu bubaga ayinza okutega bannaabwe ebintu ebyobulabe ng’obutwa Engeri gye kaba kaseera ka buli omu kusanyuka, eby’okwerinda bwe biba ebinafu abantu ab’emitima emibi bayinza okubakolako ekintu eky’obulabe.

Okwewala obuzibu obwo amasomero agamu gassaawo amateeka agalina okugobererwa ku bubaga buno.

Olwokutaataaganyizibwa kw’abayizi okubaawo mu kweteekateeka amasomero agamu obubaga babussaayo mu lusoma olwokubiri abayizi batere batereere nga tebataataaganyizibwa mu lusoma olwokusatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...