
GAVUMENTI ekalambidde ku by’okuta Besigye n'egamba talina nsonga etegerekeka erimu eggumba gyasinziirako okusaba kkooti okumweyimirira.
Omuwaabi wa gavumenti Frolence Akello agambye nti yadde nga Besigye agamba nti alina emyaka 60 era nga omuntu w’emyaka gino tasaana kubeera mu kkomera talina bujulizi bwaleese omuli ebbaluwa y’obuzaale eyinza okukakasa nti ddala wa myaka 60.
Akello annyonnyodde kkooti nti engeri Besigye gy'alina ekiwaayi ekinene ekimugoberera, ayinza okutendewalira naddala mu kampeyini y'okuguguba emenya amateeka ng’eno ye yamuviirako obuzibu.
Bino bibaddewo enkeera ya leero omulamuzi Wilson Musalu Musene bw'abadde atudde okuwulira okusaba kwa Besigye okweyimirirwa.
Besigye ng’ayita looya we Ernest Kalibbala agambye nti yaakamala mu kkomera emyezi 2 kyokka ng'omusango ogwamuggulwako ogw’okulya munsi ye olukwe baali bagumuvunaanyeeko mu 2005 naye n'egugobebwa olw’okubulwa obujulizi nga ne ku mulundi ogwo kkooti ya mukkiriza okweyimirirwa.
Besigye aleese abantu 3 okumatiza kkooti okumweyimirira okubadde pulezidenti wa FDC Mugisha Muntu, omubaka Nandala Mafabi, omubaka wa munisipali y'e Rukungiri, Ronald Mugeme ne Meeya w'e Rubaga Joyce Nabbosa.
Mu bantu abangi abazze okulaba Besigye ku kkooti, n'omuyimbi Bobi Wine talutumidde mwana.
Omulamuzi Musalu agambye nti waakuwa ensala ye enkya ku Lwokubiri.