TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Abatujju ba ISIS basse abantu abasoba mu 80 e Bufalansa

Abatujju ba ISIS basse abantu abasoba mu 80 e Bufalansa

Added 15th July 2016

EMIRANGA n’ebiwoobe bibuutikidde ekibuga, abatujju balumiramwoyo ababadde mu kimotoka bwe bakivuze mukungujjo ne basaabala enkumi n’enkumi z’abadigize okukkakkana ng’abasoba 80 bafu n’abalala abasoba mu 100 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

EMIRANGA n’ebiwoobe bibuutikidde ekibuga, abatujju balumiramwoyo ababadde mu kimotoka bwe bakivuze mukungujjo ne basaabala enkumi n’enkumi z’abadigize okukkakkana ng’abasoba 80 bafu n’abalala abasoba mu 100 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Bino bigudde mu kibuga Nice mu Bufalansa, abatujju bwe bageze nga nnamungi w’omuntu akung'aanye ku bikujjuko by’okujjukira bannansi lwe baatandika okwerondera abakulembeze n’abasaabala n’oluvannyuma bwe basaasaanye n’abasindiriramu amasasi agalese ensi yonna mu maziga n’okwennyamira.

Obulumbaganyi buno bwabaddewo ku ssaawa 5.00 ez’ekiro ky’Olwokuna nga buno bwa mulundi gwakuna mu myaka ebiri okutuusibwa ku Bufalansa, erimu ku mawanga kirimaanyi mu nsi yonna.

Bereft: A shocked woman in yellow sits on the phone next to the body of a loved-one, surrounded by debris,  as ISIS terrorists again struck in France, this time on Bastille Day, killing at least 84 

Aftermath: This photograph was taken in the moments after the lorry crashed through crowds of people in the devastating terror attack

Bwazzeewo oluvannyuma lw’ennaku nnya zokka ng’empaka z’omupiira eza Bulaaya (Euro) zaakafundikirwa era nga bangi ku bawagizi babadde bakyasiisiddemu okulya obulamu.

Oluvannyuma lw’ekimotoka okulinnya abantu, waabaddewo okubwatuka kw’amasasi nga poliisi erwanagana n’omutujju eyabadde yeesomye ng’alemedde ku ky’okutta abantu. Amasasi gaamukwasizza n’afiirawo.

Akabiina k’abatujju aka ISIS keewaanye nti bammemba baako be bali emabega w’obulumbaganyi buno.

Fight for life: An injured young woman wounded in the terror attack is treated in the street by a paramedic as dozens more fight for their lives today

A truck ploughed through a large group of people in Nice during a suspected terrorist attack which claimed 'dozens of lives' 

Okumanya ng’abatemu bazze bamazeeko, poliisi bwe yayazizza ekimotoka mwe yabadde yasanzeemu emmundu ne bbomu ezikasukibwa.

Essaawa abatujju we baalumbidde abantu ebiriroliiro byabadde byakatandika okubwatuka. Olunaku luno lubeera lwakuwummula mu Bufalansa nga lussibwamu nnyo ekitiibwa.

Ekimotoka ekyasaabadde abantu kyatambudde mayiro nnamba nga tekinnayimirira era obwedda abantu bakyekanga ng’abaabadde ab’omukisa baasobodde okussaako kakokola tondeka nnyuma.

Armed police took up positions during the attack fearing there were additional terrorists in the area as the perpetrator was shot dead 

Emirambo gy’abantu gyasigadde gigahhalamye ku makubo nga mwabaddemu n’abaana abato. Abakyala abamu baalabiddwa nga kibayitiriddeko kuba baasigadde batudde ku mabbali g’oluguudo awaabadde emirambo nga poliisi ye yabayambye okubaggyaawo n’ebatwala ewaabwe.

Abantu abaabadde ku bizimbe waggulu baalabiddwa nga balingiza kyokka nga basobeddwa kuba baabadde tebamanyi waakuddukira.

Kyategeezeddwa nti singa poliisi teyayanguye kutuuka omutujju yabadde akyatta abantu okuva n’emmotoka bwe yasangiddwaamu bbomu.

Overwhelmed: Paramedics help a stricken victim on the left side of the picture, on the right hand side a man crouches, clearly in tears over the body of a victim

Path of destruction: The driver spent around 30 minutes on the road before he was stopped by a police marksman in a shoot-out

Poliisi erwanyisa obutujju mu Bufalansa yawadde ekiragiro abantu okusigala mu mayumba gaabwe, okutuusa nga bamaze okukakasa nti embeera ezze mu nteeko.

Abaserikale obwedda batambula n’ekizindaalo nga babuulira abantu ebifo awookulaga n’okubagaana okugenda mu bifo ebimu.

Emmotoka omutujju mwe yabadde yonna baagikubye amasasi agaagisensebudde, okutuusa naye lwe yattiddwa kyokka nga waabaddewo ensiitaano ey’amaanyi.

French police riddled the truck with gunfire in an effort to kill the crazed driver of the truck which ran down hundreds of people 

Carnage: The killed zig-zagged across the road trying to hit as many people as possible, including several children killed as they watched the fireworks

Omugoba w’ekimotoka ono obwedda alinnya abantu ng’abagezaako okudduka b’asindiriramu amasasi.

Poliisi eteebereza nti mu mmotoka eno ayinza okuba nga yabaddemu n’omuntu omulala anoonyezebwa. Kigambibwa nti omutujju yawuliddwa ng’aleekaana nti , ‘Allahu Akbar’ ekitegeeza nti Katonda munene.

Ebiwandiiko ekyafulumiziddwa kiraga nti omuvubuka eyattiddwa yabadde wa myaka 31, ng’alina obutuuze mu Bufalansa ne Tunisia.

Investigation: Police in France are now treating this as a terrorist attack and have admitted the killer was known to them and is believed to be from Nice via Tunisia

Panic: Emergency services were working through the night to treat people in the street where they lay or in local hospitals. Doctors are begging for people to donate blood to help the injured

Francois Hollande, Pulezidenti wa Bufalansa yategeezezza nti abantu abasinga abattiddwa baabadde baana era n’alangirira ebiseera ebya kabenje mu ggwanga okumala emyezi esatu.

Minisita w’ensonga z’omunda Pierre-Henry Brandet, yagambye nti bali mu kunoonyereza okuzuulira ddala oba ng’omutemu yabadde yekka oba nga waliwo abaamuyambyeko okutegeka obutemu buno nga singa banaabaawo bonna bajja kukwatibwa.

Obulumbaganyi buno we bujjidde ng’akabinja k’abatujju aka ISIS kaakamala okukola obulumbaganyi mu kibuga Paris mu November wa 2015, omwafiira abantu 130. Mu 2014, abasajja babiri baalumba abantu nga bakozesa emmotoka e Bufalansa mu nnaku bbiri ezoomudirinhhanwa.

Rush: Victims have been rushed to hospital for life-saving treatment but dozens remain critically ill and more are expected to succumb to their injuries

 

Obulumbaganyi obwasooka bwali mu kibuga Dijon ne balumya abantu 13 ate obwaddako bwali mu kibuga Nantes ne batta omuntu omu abalala mwenda ne bagendera ku bisago.

Oluvannyuma omutemu eyatta abantu mu kibuga Nantes yeetugira mu kkomera ng’okumuwozesa tekunaagwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...