
Gen Kale Kayihura
OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura akoze ekyukakyuka mu basirikale mw'akyusirizza abasirikale 18 ab'amadaala aga waggulu.
Mu kiwandiio ekyafulumiziddwa nga July 24 , 2016 nga kiteereddwako omukono gwa Gen. Kale Kayihura zino wammanga ze nkyukakyuka z'akoze;
Omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, AIGP Abaasi Byakagaba abadde akulira ettendekero ly’abasirikale abali ku madaala aga waggulu e Bwebajja akyusiddwa. Ettendekero lino liri wansi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka abasirikale, ekikulirwa AIGP Andrew Felix Kaweesi. Byakagaba asikiziddwa CP Frank Mwesigwa, abadde akulira ettendekero ly’abasirikale erisangibwa e Kabalye mu Masindi.
Moses Kafeero abadde akulira ettendekero ly'e Bwebajja yasindikiddwa okwongera okutendekebwa mu ttendekero lya poliisi e Musanze Rwanda, SCP Stephen Tanui naye asindikiddwa okutendekebwa mu ttendekero lya poliisi e Bwebajja, SCP John Nuwagira afuuliddwa amyuka akulira ebikwekweeto mu poliisi.
Mu balala abakyusiddwa; ACP Micheal Mugabi atwaliddwa okukulira ettendekero lya poliisi e Masindi ng’amyukibwa SP Martin Odero , SSP Ezekiel Ebapu Emitu afuuliddwa amyuka omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, SSP Emiriano Kayima aggyiddwa mu poliisi ekola ku nsonga z’ettaka gy'abadde ng’omwogezi n'afuulibwa omutabaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo mu Kampala n’emirirwano .
Mu nkyukakyuka ze zimu, Kayihura ebifo by’abasirikale abavunanibwa mu kkooti ya poliisi olw'okuweweenyula abantu kibooko, ebifo byabwe abibaggyeemu n'abasikiza b'ofiisa abalala ng'okubanoonyerezaako bwe kugenda mu maaso.
Ku bano kuliko; SSP Andrew Kaggwa abadde RPC Kampala South , SSP Samuel Bamizibire abadde akulira poliisi ekkakkanya obujagalalo mu Kampala n’emirirwano, SP Moses Nanoka abadde DPC e Wandegeya , ne ASP Patrick Muhumuza basindikiddwa mu ofiisi evunaanyizibwa ku mbeera z'abapoliisi okutuusa ng'emisango egibavunaanibwa okukuba abawagizi ba Dr. Kizza Besigye.
Mu nkyukakyuka zino, SP Godfrey Kahebwa kati y'akola ng'omuduumuzi wa Kampala South , ASP Joseph Gwaido Bakaleke afuuliddwa DPC wa CPS nga Aaron Baguma abaddewo ateekateeka okugenda okutendekebwa, ASP Joseph Nsabimana aggyiddwa e Nateete n'afuulibwa DPC w'e Wandegeya, ASP Graciano Nkuruziza afuuliddwa OC Station CPS ate ASP Rashid Byansi aggyiddwa e Nalumunye n'afuulibwa OC Station e Katwe.
Mu ngeri y'emu, Gen Kayihura atutte ACP Anatoli Muleterwa okufuuka amyuka avunaanyizibwa ku kutendeka abayamba ku poliisi okulwanyisa abamenyi bamateeka ( Crime Preventers), ACP Fredrick Ssegirinnya atwaliddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa okutendeka abasirikale, ACP Charles Ssebambulidde atwaliddwa mu kitongole eky’ebidduka ng'avunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka. N'abapoliisi abalala bangi abakyusiddwa.