TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'amasomero ga St. Lawrence annyonnyodde eby'obugagga bwe ne yeewuunya abagagga abalaajanira Gavumenti

Ow'amasomero ga St. Lawrence annyonnyodde eby'obugagga bwe ne yeewuunya abagagga abalaajanira Gavumenti

Added 31st July 2016

Ebyobugagga n’engeri gye yategeka enzirukanya y’emirimu mu masomero ge, esomooza abagagga abali mu kusaba Pulezidenti Museveni abataase mu mabanja mwe batubidde.

 Essomero lya St. Lawrence Paris ku lw’e Masaka ate mu katano ye mugagga Lawrence Mukiibi

Essomero lya St. Lawrence Paris ku lw’e Masaka ate mu katano ye mugagga Lawrence Mukiibi

MUKIIBI owa St. Lawrence wadde ali ku ndiri naye bizinensi ze ziri katebule!

Ebyobugagga n’engeri gye yategeka enzirukanya y’emirimu mu masomero ge, esomooza abagagga abali mu kusaba Pulezidenti Museveni abataase mu mabanja mwe batubidde.

Ebyobugagga by’alina bibalirirwamu obuwumbi obusukka mu 100 kyokka tanyenyezebwa bbanka nga bwe kiri ku bagagga b’omu Kampala abamu.

Mukiibi yagamba nti, yunivasite yokka (St. Lawrence University) e Lubaga okuliraana ennyanja ya Kabaka yagibalamu obuwumbi 25 be ddu!

Kuno kw’ogatta amasomero musanvu agali ku luguudo lw’e Masaka, kw’okomya amaaso.

1 London College e Maya erimu abayizi 1,200 ng’eno buli muyizi asasula 960,000/-.

2 Crown City Campus yagissaamu abayizi 800 ng’omuyizi owa S.1 – S.4 asasula 930,000/- ate owa S.5 ne S.6 asasula 960,000/- buli ttaamu.

3 Paris Palais Campus nayo yagissaamu abayizi 800 nga buli muyizi asasula 960,000/-

4 Horizon Campus ery’abawala nalyo yaliteekamu abayizi 800 nayo buli muyizi asasula 960,000/-

5 Creamland Campus yagissaamu abayizi 700 nayo buli muyizi asasula 960,000/-

6 The Academy lye yatandikirawo bamufunampola mw’asasuliza fiizi entono nga buli muyizi asasula 500,000/-

Yunivasite ya St. Lawrence e Lubaga.

 

7 Lorencia Junior School e Nsangi erya pulayimale ng’abava awaka basasula 400,000/- ate ab’ekisulo basasula 700,000/-

Amasomero omunaana g’alina nga ne yunivaasite ogitaddeko biyingiza ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi 10 buli ttaamu ekimuyamba okusasula ‘looni’ za bbanka nga tafunyeemu nkenyera yonna.

Abantu b’akozesa omuli ab’emirimu egy’enkalakkalira n’egigwa obugwi bakunukkiriza mu 1,000 era buli olukya ayongera okutondawo emirimu mirala, okwawukanako n’abagagga abatiisatiisa nti bwe batayambibwa bandiwalirizibwa okugoba abakozi ku mirimu.

Amangu ddala ng’amawulire ga Polof. Lawrence Mukiibi okufuna akabenje gatandise okusaasaana ku Lwokubiri, enkumi n’enkumi z’abantu abayise mu mikono gye mu myaka 23 bukya atandikawo amasomero ga St. Lawrence wamu n’abazadde abasomesezaayo abaana baatandikiddewo okuweereza obubaka obumusabira okussuuka amangu kubanga Uganda emwetaaga okusinga bw’agyetaaga.

TADIIBUUDA N’OKWERAGA

Alina amaka amasaamusaamu e Kitemu mu ggombolola y’e Nsangi okwawukanako n’abasaba okuyambibwa kyokka nga ze beewola mu bbanka baazizimbamu ggoloofa ne bassaamu jjiimu n’ebidiba ate bye balekawo ne bagenda bbiici!

Ekinene Mukiibi kye yateeka ku makaage Polof. Mukiibi ayingiza obuwumbi 10 buli gy’emiti gye yeetooloozaawo egifuula amaka gano ekifo ekyegombesa.

Abeejalabya gye banoonyeza amayumba e Munyonyo n’e Muyenga, Mukiibi amaka yagateeka Kitemu okuliraana awali amasomero ge ne kimusobozesa okugalawuna obulungi era buli lunaku akeera ku 12:00 ez’oku makya n’atuuka ku buli ssomero okulaba emirimu bwe gitambula era we zituukira 4:00 ez’oku makya ng’alambudde buli ssomero.

Abagagga b’omu Kampala abalala we bayiira ssente mu mmotoka ez’omutawaana ne bazissaako ne nnamba zaazo okuli amannya gaabwe eya Mukiibi ey’ekika kya Fortuner yagireka mu nnamba eza bulijjo UAT 896V.

Ebimu ku bino abamu ku Bannakampala kwe baasinziira okukissaawo nti ssente ezikola amasomero ago ssi zize, wabula Mukiibi yayogera ku nsonga eno mu 2013 mu mboozi ey’enjawulo n’aba New Vision n’atangaaza nti: Bwe nnali nziggulawo essomero lya Horizon Campus mu 1999, nayita Muky. Janet Museveni okuliggulawo ng’omugenyi omukulu era ekibooziboozi kyatandikira awo nti amasomero ssi gange, amaka g’Obwapulezidenti galinamu omugabo ebitaliiko mutwe na magulu.

 

Yayongera okukkaatiriza nti: “Mbakakasa nti famire ya Pulezidenti terina kakwate konna ku masomero ga St. Lawrence; tuli baamukwano era bwe mbayita ku mikolo gy’amasomero gange tebatera kugaana. Pulezidenti atukyalidde emirundi esatu ate mukyala we emirundi ebiri naye abantu bye boogera biva ku kubeera nti bangi tebakkiriza nti omuntu asobola okukola eby’amaanyi. Bangi bwe balaba ebibasukkiridde nga batyebekawo bye balowooza.

Bannayuganda bangi banafu era bwe balaba ayiseemu nga batandika okwogera ebibayamba okwegumyagumya nti, “Ndaba n’oyo ssi bibye, alina b’akolera.” Olwo babeera beebuuza nti bwe baba tebasobodde kubikola ate omulala abisobola atya okuggyako ng’alina abanene mu Gavumenti b’akolera!

Kitange yanjigiriza okukola, sseetaaga kuyambibwa kwonna oba kukolera muntu yenna.” Kitaawe wa Mukiibi yayitibwanga Bernard Kakinda e Kisowera mu Lwengo era ye yasooka okutandikawo essomero ery’obwannannyini mu ttundutundu ly’e Masaka mu 1941 n’alituuma St. Bernard Primary School Kisowera.

Kino kyanyiiza Abaminsani ne bamugoba mu Klezia n’okumumma Amasakaramentu wabula yagenda bugenzi mu maaso n’ekirooto kye era oluvannyuma essomero lyafuuka lya siniya. Mukiibi yategeeza nti ebigambo bya kitaawe bye yabakuutiranga ng’abakuza eby’okussaawo ekintu ekirabikako ekiribajjukirirwako, bye byamuwaliriza okutandika amasomero n’okugenda mu maaso ng’agagaziya.

Wadde kitaawe yafa, naye we yafiira yali amaze okulaba amasomero abiri mutabani we ge yali yaakatandikawo era yafa musanyufu. GY’AYISE OKUTUUKA W’ALI Yakolerako e Kenya ng’asomesa Olungereza mu Afraha High School e Nakuru era bwe yaweebwa obukulu bw’essomero n’alikuza okuva ku bayizi 300 ne lituuka ku bayizi 1,300.

Mu 1989 yakomawo mu Uganda era yasooka kukulira Kampala Parents eryali erya Edward Kasole Bwereere we yava okutandika essomero lya St. Lawrence ku nnyanja ya Kabaka mu 1993 era mu kusooka ebizimbe yapangisanga bipangise.

Yatandika n’abayizi 6 bokka kyokka omwaka we gwaggweerako ng’awezezza abayizi 160 ate omwaka ogwaddako n’aweza abayizi 450.

Ekirowoozo ky’okutandikawo amasomero amalala yakiggya ku Muyindi e Kenya gwe yalaba mu kiseera we yabeererayo ng’alinaessomero mu buli kabuga. Obungi bw’abayizi abaasabanga ebifo nabwo bwamuwa amaanyi okutandikawo amasomero g’alina kati era emyaka esatu emabega n’asalawo okutandika Pulayimale erya Lorencia, ng’akirabye nti abazadde bangi baagala bamukwase abaana okuva lwe batandika okusoma okutuusa lwe bamaliriza yunivaasite.

Abamu ku baana be abayingizza mu bizinensi y’amasomero era akola n’abaana be 4; Omu asomesa, omulala y’akola ku by’okulanga, owookusatu y’akola ku by’okuzimba, n’omulala akola ku byakugula ebintu ebikozesebwa mu masomero ga kitaawe. Abaana bano kati be baddukanya emirimu gy’amasomero nga bakolera wamu n’abakozi ate nga mu kiseera kye kimu bakolera wamu ne nnyaabwe n’abaana abalala okukakasa nti Mukiibi afuna obujjanjabi bwonna obwetaagisa asobole okussuuka addemu okukuliramu emirimu gy’amasomero ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'akutte omu ku basajja abaakwatiddwa.

Bakutte abavubuka b'oku Kal...

ABASUUBUZI mu lufula y’oku Kaleerwe baloopye akabinja k’abavubuka akabadde n’ebissi nga kigambibwa nti babadde...

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...