TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Nnaalongo Nakato alojja ennaku y'ekyeyo: 'Nagenda mu Bawalabu kukolerera baana bange nkomyewo na miziina'

Nnaalongo Nakato alojja ennaku y'ekyeyo: 'Nagenda mu Bawalabu kukolerera baana bange nkomyewo na miziina'

Added 31st July 2016

“NALI ntutte ebbanga nga nkola mu saluuni e Iganga naye nga ndaba ssente ze nnyingiza teziwera kulabirira baana bange. Mba nkyafumiitiriza ku kye nnyinza okukola okwongera ku nnyingiza yange, Mukama gye yaleetera mukwano gwange Abudallah Muhammad Hilary.

 Nakato ng'akaaba

Nakato ng'akaaba

“NALI ntutte ebbanga nga nkola mu saluuni e Iganga naye nga ndaba ssente ze nnyingiza teziwera kulabirira baana bange. Mba nkyafumiitiriza ku kye nnyinza okukola okwongera ku nnyingiza yange, Mukama gye yaleetera mukwano gwange Abudallah Muhammad Hilary.

Ono yandukira ddiiru nga yaakulinnya nnyonyi ηηende nkole ssente Enzungu olwo mmotoka n’enju eyange bye nali ndoota mbyetuuseeko. Nacamuukirira ne nkuba obufaananyi nga ndaba abaana bange abalongo beevuga mu bimotoka bye mbagulidde.

Saamanya nti byonna bye nali nkuba mu bufaananyi byali bigenda kuggweera mu kasasiro, ono gwe nkomyewo naye!

Nnaalongo Catherine Nakato, (25) ow’e Busia buli lw’anyumya emboozi ku ngeri gye baamutunda e Buwalabu ne bye yayitamu, amaziga gamuyitamu.

Agamba:

Mu April w’omwaka guno nali mu saluuni mwe nali nkola e Iganga nga tunyumya ne bannange ku ngeri gye tuyinza okukolamu ssente, mukwano gwange Abdallah Muhammad Hilary we yatuukira. Oba yali awulirizza emboozi yaffe, nange saamanya.

Yajja n’aηηamba nti, Omanyi Cathy waliwo ddiiru efuna, osobola okugenda mu Bawalabu n’okola ssente empya n’enkadde. Zino ssente z’okola wano osobola okuzikubisaamu ng’ebya saluuni obikola eri.

Mu butuufu ddiiru gye yaluka nalabira ddala ng’efuna kiralu era nga nsobola okufuna buli kye nneetaaga. Natandika okukola pulaani era Muhammad yansaba emitwalo 12 okungobera ku buli kimu ne ndabira ddala ng’obulamu bwe nneegomba nja kubufuna mu Oman.

Twakola ku buli kimu ne mpaayo obufaananyi n’ebifaananyi byange ebinene kyokka nga simanyi gye bitwalibwa.

Saamanya nti nali ntwalibwa ku mudaala mu Buwalabu kugulibwa nga muddu era nga sigenda kukola mu saluuni!

Nakato n’ebintu bye yakomyewo nabyo.

 

NTANDIKA OLUGENDO

Nga May 15, 2016 nasiibula abaana bange okuli n’abalongo ne mmange nga njolekera kisaawe e Ntebe gye nali nnina okufunira ebinnyongerayo.

Okuva e Busia natambulira ku masimu okuva ewa Salma Muhammad eyambuliranga eky’okukola era yafubanga okumbuuza we ntuuse.

Bwe ntuuka ku kisaawe, waliwo omuwala gwe saamanya mannya era gwe nali ndowooza nti ye Salma (nkizuula luvannyuma nti si ye ye) n’ankwasa paasipooti naye tebanzikiriza kugibikkula kulaba birimu.

Omuwala ono yaηηamba nnyanguwe tulinnye nti ennyonyi ejja kundeka. Ssebo baali baηηaanyi n’okubaako gwe nkubira ate nga nze muli nali mpulira nga nnina okusiibula maama.

Banzikiriza ne mmukubira ne njolekera Oman. Mu nnyonyi nasangamu abawala abalala 15 nga ffenna tugenda mu nsi emu.

Waliwo omukyala eyankubira essimu ne nneebuuza gye yaggye nnamba yange naye saakifaako nga ndowooza kimu kutuuka ntandike okukola ogwa saluuni njoole ssente.

Nga ndi ku nnyonyi, nakebera paasipooti gye bampa we namanyira nti abasajja bano batutambuza mu bukyamu kuba mu kifo ky’emyaka 25 gye nnina nga bataddeko nti nazaalibwa 1979.

Yali eraga nti nazaalibwa mu Kisenyi kyokka nga nze ndi w’e Busia era wano we nneekwasiza Katonda ankulembere.

Nnaalongo Nakato ng’alombojja.

 

NTUUKA E MUSCAT

Ennyonyi olwagwa ku kisaawe kya Muscat Abawalabu twabasanga batulindiridde era nga buli omu amanyi gw’ayagala kuba baali baafuna dda ebifaananyi byaffe nga n’okutugula baamala dda.

Omukyala oli eyankubiranga essimu nga ndi ewaffe (Salma) we namulabira. Ono alina omukyala gwe yankwasa okukkakkana nga tusibidde wuwe.

Oluvannyuma lw’ennaku bbiri, namubuuza saluuni gye ηηenda okukolera gy’eri, n’anziramu nti, ‘ Ebya saluuni bye biki by’oyogerako? Nakuleese kukola wano ebyo sibimanyi by’oηηamba.

Amaka gano gaalimu abantu abasoba mu 30 okuli n’abaana, ng’olina okufumba okwoza engoye, okusiimuula ebisenge ebicaafu ekitenkanika kuno nga kw’ogasse n’okukukuba nti emirimu ogikola mpola ate nga n’emmere olunaku olya omulundi gumu.

Emyezi ebiri gye mmazeeyo nninga abaddeyo emyaka ekkumi. Mbaddenga nzuukuka ku ssaawa 10:00 ez’oku makya ne ntandika emirimu.

Nga bwe nfuluma ekisenge mwe nsula nga bakisiba siddamu kukiyingira okutuusa ku ssaawa 6:00 ogw’ekiro.

BANDIISA EMMERE MWE BAWANZE AMALUSU

Okumanya abantu bano bajoozi, mbadde nfumba emmere ne bejjulira olwo nze ne bansindika mu ffumbiro.

Bwe bamala okulya nga bampita esigaddewo nga bagiwandamu amalusu nga bagimpa ndye.

Kino kyammala enviiri ku mutwe era nakakasa nti abantu be ndimu kirabika n’obutemu batemu. Namala wiiki nga sisobola kulya kintu kyonna, nga nsulirira mazzi.

NKOLA OLUTALO

Lumu mba njoza, muka bboosi n’ajja n’ampa empale gye yali agenzeemu mu nsonga z’abakyala ne ngisuula mu kasasiro.

Yali annumba ne mmugwa mu bulago mmutuge ng’obusungu bunzita!

Yagenderawo ku poliisi n’andoopa. Poliisi bwe yajja ne nneegaana kuba tewaali na bukakafu n’eddayo.

Pasipooti gye baawa Nakato.

 

Okuva kw’olwo okuntulugunya kweyongera, awaka embeera n’entabukira nga n’okunkuba bankuba naye ne nguma kuba nali sirina we ndaga wadde ssente ezisobola okuntolosa.

NTOLOKA AWAKA

Nga bwe yali enkola, nasigala nkola emirimu ng’abalala bagenze okwebaka. Wano Mukama w’akolera ekyamagero, bwe nali mu ffumbiro ηη’enda okutunula waggulu mu kakabada akaterekebwamu ebintu nga nnoonya ebikozesebwa kwe kulaba ekisumuluzo.

Omutima gwankubira kukigezesa. Nasooba mpolampola ne njolekera oluggi, olwakiteekamu kyaggulawo bugguzi ne nfuluma, saaluggala ne nfuluma ekyannyamba n’ekikomera tekyali kisibe.

Olwafuluma nasanga omusajja ne mmusaba okundagirira ku poliisi era naye kye yakola. OWA

POLIISI ANNEEFUULIRA

Ku poliisi nasangawo abaserikale abawera bwe nabannyonnyola ne bantwala mu ofi isi y’omukulu gwe nabuulira ebyantuukako byonna.

Yansaba ennamba y’omuntu eyandeeta mu Oman ne mmuwa essimu ya Salma gwe yakubira n’anneegaana nti tammanyi.

Namuwa ennamba y’essimu y’omuntu abadde ankozesa, ono yamukubira naye n’asooka anneegaana bwe nawulira kino ne ndeekaana nti, (‘Offi cer l can take you at her home if you give me security)’ Ofi isa nsobola okukutwalayo ssinga ompa obukuumi.

Omukyala olwawulira n’asaba atuwe essimu ya ofi isi we yasisinkanira abandeeta mu Oman.

Omukulu wa poliisi yakyukira mu kiti nga mbazzi n’ava mu ku nnyamba n’atandika kuntigaatiga mabeere nga bw’ansaba okwegatta naye alyoke annyambe.

Namwesikako mu bukambwe nga n’amaziga gampitamu ne mmutegeeza nti, ‘Nze nva Uganda oba toyagala ku nnyamba nneesonyiwa naye sigenda kukola ky’oyagala.

 

Oba mmwe musinza Allah nze Katonda gwe nsinza ajja kunnyamba nzire e Uganda.’ Nafuluma mu ofi isi ye ne ntuula wabweru wa poliisi okutuusa obudde lwe bwakya.

NFUNA OMUZIRAKISA

Ku makya ku poliisi wajjawo omukazi Omufi ripino ng’alina ensonga ze. Bwe yandaba nga nkaaba yamanya nti kirabika nina obuzibu kwe kumbuuza ekinkaabya ne mmulombojjera ennaku gye ndimu.

Yansitula n’antwala mu maka ge, n’andabirira okumala ennaku ssatu. Yankolera ku bisaanyizo ebyanninnyisa ennyonyi okudda e Uganda.

Yakwatagana ne poliisi ne bawaliriza abaali bantutte okuzza paasipooti yange kuba baali bagiwambye ne bagizza ne nninnya ne nkomawo kuno ku Lwomukaaga nga July 23, 2016.

Omukyala ono yampa ekisawo ekyalimu engoye enkadde n’ebigatto ebikadde n’ebyokulya bye nazze nzunga nabyo.

Eyali yeesunga okuvulumula mmotoka n’okuzimba enju nadda na kasasiro. Omukyala ono okunnyamba yamala kuwulira ng’ekisinga okunnuma be balongo bange be nagenda okukolerera.

Bwe natuuse ku kisaawe nasanze waliwo abawala abalala n’abalenzi abakomawo wabula ate ng’abamu bakaaba ennaku eterojjeka gye babadde bayitamu nga balina n’obulwadde obutategeerekeka.

Abamu ku bannaabwe baabattirayo nga babasala nga embuzi n’okubasukuma okuva ku bizimbe ne bagwa ne bafa”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...