TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Haji bamuziise mu kkeesi n'awuniikiriza Abasiraamu! Omulambo gubaddeko ebiragiro ebikakali

Haji bamuziise mu kkeesi n'awuniikiriza Abasiraamu! Omulambo gubaddeko ebiragiro ebikakali

Added 2nd August 2016

ABADDE bba wa Hajati Sumin Nabagereka, ssaabakunzi wa NRM mu Lubaga, aziikidwa wakati mu booluganda obutamatira nfa ye sso nga n’Abasiraamu beewunaganyizza ku nziika ye etaagoberedde mateeka ga ddiini yaabwe.

 Abakungubazi nga batwala kkeesi omuli omulambo. Mu katono ye mugenzi Ismail Mulondo.

Abakungubazi nga batwala kkeesi omuli omulambo. Mu katono ye mugenzi Ismail Mulondo.

ABADDE bba wa Hajati Sumin Nabagereka, ssaabakunzi wa NRM mu Lubaga, aziikidwa wakati mu booluganda obutamatira nfa ye sso nga n’Abasiraamu beewunaganyizza ku nziika ye etaagoberedde mateeka ga ddiini yaabwe.

Hajji Ismail Mulondo ye yafiiridde mu kabenje ka mmotoka mu Amerika gye buvuddeko. Nnamwandu Nabagereka yategeezezza nti; “Baze yasooka kunkubira ssimu n’antegeeza nti mweraliikirivu olw’abantu abaali bamutambulirako nga bamusaba abeegatteko mu kampeyini y’ebyobufuzi bya Amerika kyokka ne mmusaba aleme kukkiriza.”

Ng’eno amaziga gamuyitamu, yayongeddeko nti ekyaddiridde kwabadde kuwulira nti bba afi iridde mu kabenje ka mmotoka mwe yabadde atambulira n’abaana baabwe ababiri, Mayi ne Neira, abaakasimattuse wadde ng’omu yakoseddwa nnyo.

Omulambo gwazziddwa ku Lwokutaano akawungeezi okuva ku kisaawe e Ntebe ne gutwalibwa mu maka ge e Nabweru gye gwasuze ne bamuziika mu limbo y’Abasiraamu e Kololo ku Lwomukaaga akawungeezi wakati mu booluganda okumukungubagira.

OMULAMBO GULIKO EKIRAGIRO

Okuva omulambo lwe gwatuuse e Ntebe, Capt. Mulasa Musiitwa, mwannyina wa nnamwandu, yajjukizza abeηηanda n’abeemikwano nti abasawo mu Amerika baagaanyi okubikkula kkeesi omwabadde omulambo ng’agamba nti kiyinza okubaviirako obuzibu.

Wano obukuukuulu we bwatandikidde ng’abantu boogera obutonotono nti, “Muntu wa wa afa ne batamubikkulako? Ataafudde Ebola nti anaasaasaanira abantu abasawo bamugaana batya okumubikkula!”

Abalala baagambye nti, “Tukakasa tutya nti omuntu waffe gwe batuleetedde nga tetulabye ku mulambo? Omuntu afudde akabenje naye bamussaako obukwakkulizo? Kakodyo ki?,” n’ebirala.

Capt. Musiitwa yeevuddemu n’addamu okubalaga ebiwandiiko by’abasawo n’ategeeza nti kiyinzika okuba ng’eddagala lye baakuba omulambo lya bulabe eri obulamu bw’abantu singa kkeesi mwe guli ebikkulwa.

Namwandu Sumin Nabagereka ng’ali ne Lubakyoya amukubagiza.

 

BATABUKA NE NNAMWANDU

Omu ku booluganda lw’omugenzi ataayagadde kumwatuukiriza yategeezezza nti, “Obutakkaanya bwatandise mu kiro ky’Olwokutaano.

Muganda waffe twabadde tutegese kumuziika ku biggya e Bubogo (mu disitulikiti y’e Iganga) awali ekiggya kya bajjajjaffe kyokka bwe twawulidde obukwakkulizo obukontana n’eddiini yaffe ey’Ekisiraamu ne tukyekengera.

Baatugambye nti tetulina kumubikkula wadde okumunaazaako ekyatumazeemu amaanyi kuba bwe bumu ku bulombolombo bw’enziika y’Ekisiraamu.

Twakkirizza bamuziike ku ttaka lya mukadde we, Baagalaliwo okumpi n’ekiggya, kyokka wano ate Sumin (nnamwandu) n’atutabukira nti ekigendererwa ky’okuzza omulambo kyabadde kumuziika ku kiggya kya bajjajjaffe.

Wano we yasaliddewo nti oba tugaanyi okumussa ku kiggya ekikulu, ye kaamuziike mu kifo ky’asuubira nti ajja kuwummula bulungi era ng’eno ye limbo y’Abasiraamu e Kololo. Kino kyanyiizizza abooluganda bangi era ne mukadde waffe, Baagalaliwo teyazze kuziika.”

OKUZIIKA E KOLOLO

Okuziika okwabadde kutegekeddwa ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo, kwatandise 11:40 ez’akawungeezi wakati mu nkuba eyabadde efuuyirira.

Omulambo ogwajjidde mu mmotoka za kkampuni ya A Plus omugenzi ne bamusomera dduwa. Gwasigadde mu keesi era Abasiraamu be baagutadde mu ntaana etaabaddemu ‘mwanandaani’.

Kkeesi ey’ekyuma omwabadde omulambo.

 

ISMAIL MULONDO Y’ANI?

 Yaliko kadogo mu ggye lya NRA oluvannyuma eryafuuka UPDF. Okusoma yakutandikira mu Bulopa Pulayimale e Kamuli ate siniya n’agisomera mu Wairaka College gye yamalira S6.

 Yeegatta ku NRA mu 1981 n’ava mu UPDF mu 1995 n’adda mu kulunda ebyennyanja eby’omu ggiraasi. Oluvannyuma yatandika okutalaga amawanga ag’ebweru ng’akola ne kkampuni ya Dindo, eyatundanga emikeeka, ebibbo, obusero n’ebirala mu Amerika.

 Eno gy’abade okutuusa w’afi iridde ng’ateekateeka okutandikawo kampuni etwala abavubuka okukuba ekyeyo mu Amerika. Alese nnamwandu (Sumin Nabagereka) n’abaana abawera

MUZAATA BATTE AYOGEDDE

Obusiraamu busobola okukkiriza Omusiraamu yenna okuziikibwa mu kkeesi singa wabeerawo em beera enzibu oba ey’obuwaze okugeza; Singa omuntu babeera bagenda kumuziika mu kifo eky’olutobazzi ng’amazzi gajja kumuyingira. Oba singa ekifo we bagenda okumuziika kya lwazi nga wazibu okusima Obusiraamu bukkiriza okumuziika mu kkeesi.

Amateeka ga Shariya gagondezamuko Abasiraamu mu mbeera eyogeddwaako waggulu. Kyokka bwe wabaawo embeera endala yonna nga bagikakasa nti ddala yabulabe era bagitunulamu ng’Abasiraamu.

NNAMWANDU ANNYONNYODDE

Omwami wange akabenje kaamuyisa bubbi, abasawo ne batuwa amagezi obutamuggya mu kkeesi.

Ekirala yafa mu April ng’abadde amaze mu Amerika ebbanga ddene ng’omulambo gubadde tegukyali mu mbeera nnungi. Okumuziika mu kkeesi saakikoze ku lwange nabadde ngoberera kiragiro ky’abasawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...