TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka eyatunda ettaka lya UBC bamukunyizza ne bamulagira okusesema ekyapa

Omubaka eyatunda ettaka lya UBC bamukunyizza ne bamulagira okusesema ekyapa

Added 3rd August 2016

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya Gavumenti kakunyizza omubaka Margaret Mugisa Muhanga (Burahya/ Kabarole) ku by’okutwala ekyapa kya kkampuni ya UBC ne bamulagira okukikomyawo obutasukka Lwakutaano.

 Margaret Muhanga ng’akutte ku ttama abirowoozaamu.

Margaret Muhanga ng’akutte ku ttama abirowoozaamu.

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya Gavumenti kakunyizza omubaka Margaret Mugisa Muhanga (Burahya/ Kabarole) ku by’okutwala ekyapa kya kkampuni ya UBC ne bamulagira okukikomyawo obutasukka Lwakutaano.

Akakiiko kabadde kabuuliriza ku mivuyo egiri mu UBC okuli okutunda ettaka n’okubulankanya ssente.

Kyategeezeddwa nti ettaka lino lyatundibwa abakulira UBC ne baliguza kkampuni ya HABA Group eya Hassana Basajjabalaba.

Oluvannyuma lw’obukulembeze okukyuka mu UBC, baagenda mu kkooti Enkulu nga bawakanya eky’okutunda ettaka lino eryali liweza yiika 23.1.

Kkooti yasalawo UBC okuddiza kkampuni ya HABA ssente ze yagula mu bbanga lya nnaku 60. Oluvannyuma lwa UBC okulemwa okuzzaayo ssente, kkooti yalagira ettaka lino litundibwe ku nnyondo.

Bawannyondo ba Deo and Sons Properties be baalitunda ne baliguza Muhanga ku buwumbi 10 n’obukadde 200. UBC yagenda mu kkooti Ensukkulumu n’eragira ekyapa kizzibwe mu mannya ga UBC okuva mu ga Margret Muhanga.

MUHANGA ALEMEDDWA OKULAGA BWE YAFUNA SSENTE ZINO:

Omubaka Nathan Nandala Mafabi (Budadiri West) yasabye Muhanga annyonnyole gye yajja obuwumbi 10 n’engeri gye yazitambuzaamu okuzituusa ku yamuguza ettaka.

Muhanga yategeezezza nti ssente yaziggya mu kutunda embuzi ze n’ente n’agattako okwewola okuva ku nnyina ne baganda be. Ssente zino yaziggy wuwe n’azitwalira mu kisawo n’aziwa bawannyondo.

Mafabi yamubuuzizza oba yayanjula gye yaggya ssente zino ng’amateeka bwe galagira kw’oyo ayingizza ssente ezisoba mu bukadde abiri omulundi gumu n’agamba nti, teyakikola.

Era waabaddewo okukubagana empawa akakiiko ka UBC akafuzi akaakulembeddwa Simon Kaheru bwe kaalemeddwa okunnyonnyola ennyingiza n’ebyobugagga bya UBC ng’ebiwandiiko tebikwatagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...