TOP

Abakwatiddwa e Kenya babimuzaalidde

Added 6th August 2016

Abakwatiddwa e Kenya babimuzaalidde

 Binoga (ku kkono) ng’alaga ezimu ku sitampu ezaasangiddwa ne Aliddeki.

Binoga (ku kkono) ng’alaga ezimu ku sitampu ezaasangiddwa ne Aliddeki.

ABAWALA Bannayuganda abasoba mu 30 batwaliddwa mu kkooti e Kenya ne basindikibwa mu makomera ag’enjawulo oluvannyuma lw’okukwatibwa nga bakukusibwa okutwalibwa mu mawanga g’Abawalabu mu ngeri emenya amateeka.

Omukwanaganya w’ekitongole kya poliisi ekirwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga yategeezezza nti abawala abaasindikiddwa mu makomera baakwatiddwa ku kisaawe kya Jomo Kenyatta nga balimbyelimbye ku nsalo nti bagenda Nairobi ne mu bibuga bya Kenya ebirala.

Bino yabyogedde oluvannyuma lw’okukwata Hamza Aliddeki nnannyini kkampuni ya City Easy Tours and Travel esangibwa ku kalungi Plaza ng’afeze abawala 5 okubatwala e Misiri okukuba ekyeyo.

Aliddeki yakwatiddwa ne sitampu za Viza ya Misiri n’ebbaluwa z’ekitongole kya World Vision ejingirire z’abadde awa abantu ng’abakuutidde nti bwe bababuuza ku kitebe kya Misiri balimbe nti baasindikiddwa ekitongole ekyo.

Binoga yagambye nti Aliddeki yandiba ng’aliko abantu abalala be yali yasobola okukusa n’abatwala e Misiri kubanga abawala abataano be yabadde akoledde ebiwandiiko ebijingirire baategeezezza nti waliwo abali e Misiri abaamubayungako.

Yagguddwaako omusango gw’okufuna ssente 3,000,000/- mu lukujjukujju, okukusa abantu ekikontana ne ssemateeka wa Uganda. Binoga yagambye nti baamusanze ne paasipooti z’abantu be yabadde afera n’asaba ne be yali afezeeko okubatuukirira bongere ku misango egimuvunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramula Kabasinguzi agambibwa okusibira omwana mu kkeesi.

Agambibwa okusibira bbebi m...

OMUWALA agambibwa okusibira bbebi mu kkeesi n’amutta avunaaniddwa n’asindikibwa mu kkomera e Kigo. Ramula Kabasinguzi...

Irene Namutebi ne mukwano.

Namutebi ku gw'okuyimba aga...

“Kati ndi musawo, myuziki ne bw’aba tatambudde bulungi sikyayinza kubulwa kyakulya.” Bwatyo Irene Namutebi abamu...

Cindy ne muninkini we Joel Okuyo.

'Joel Okuyo weebale kumpony...

Cindy awezezza emyaka ettano mu laavu n’omulenzi we omupya n’asuubiza abawagizi be nti essaawa yonna abanjulira...

Omugenzi Kasamba

Kitalo! Omubaka wa palament...

Bya Jaliat Namuwaya EKIBIINA kya NRM kikakasizza okufa kw'omubaka wa palamenti ya East Africa Mathias Kasamba...

Stones ng'acanga akapiira

Omutendesi wa Man City y'as...

OMUZIBIZI wa Man City, John Stones alidde nga mulimi Bakama be aba bwe bamuwadde endagaano empya mw’anaafuniranga...