TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze b'e Nakaseke basabye Gavt. ebayambe ku nkambi y'amagye

Abatuuze b'e Nakaseke basabye Gavt. ebayambe ku nkambi y'amagye

Added 6th August 2016

Abatuuze b’e Nakaseke basabye Gavt. ebayambe ku nkambi y’amagye

 Anna Nzera asaba Gavumenti ebafunire ekifo awala gye basobola okulaga kuba embeera gye balimu ebeeraliikiriza.

Anna Nzera asaba Gavumenti ebafunire ekifo awala gye basobola okulaga kuba embeera gye balimu ebeeraliikiriza.

ABATUUZE abaliraanye enkambi y’amagye ga UPDF e Nakaseke balaajanye ku mizinga egiboggola emisana n’ekiro egibabuzizza emirembe Bagamba nti abakyala abali embuto gibayisa bubi n’abalwadde gyongera okubamalamu amaanyi ne basaba ettendekero lino lisengulwe litwalibwe mu kitundu ekirala.

Baategeezezza nti mu kusooka, baalowooza nti emizinga gijja kukubwa mu biseera ebigere kyokka kati bagikuba kumpi buli lunaku nga beeraliikirira nti abaana baabwe bajja kukulira mu kutya okw’ekitalo.

Baakulembeddwa Ibrahim Segiriinya eyategeezezza nti babeera beebase amatumbibudde, emizinga ne gitandika okutokota. Bwe baba nga tebeebase n’emirimu enkeera gibalema sso nga n’abaana abasoma bakosebwa. Akasattiro kano kali ku nkambi ya Singo Military Training School e Kapeeka Nakaseke.

Segiriinya yategeezezza nti baludde nga balaajanira abakulu ne batuuka n’ewa Brig. John Bosco Bakasumba, akulira ekifo kino n’abagumya nti ensonga yaabwe egenda kugonjoolwa kyokka emizinga gyongera kutokota kumpi buli kiro.

Hakim Ssemwezi ssentebe w’ekyalo Luwanda- Kyererezi yategeezezza nti enteekateeka zigenda mu maaso amaka agasoba mu 26 okugasengula kyokka teyategeezezza ddi lwe kigenda kukolebwa. Ssemwezi yagumizza abatuuze nti abakulembeze ayogera nabo okulaba nga kye baasubizza bakikola mu bwangu.

Maj. Henry Obbo amyuka omwogezi wa UPDF, yategeezezza nti tebafunangako kwemulugunya kwonna okuva mu batuuze bano era babadde batambula nabo bulungi emyaka 30 egiyise. “Tulina amatendekero agasoba mu 30 okwetooloola eggwanga era baliraanwa baffe tubeeranabo bulungi. Omuntu ayogera bwatyo abeera ng’agamba nti tulekeyo okutendeka abaserikale, ekitasoboka,” Obbo bwe yagambye.

Yagambye nti UPDF tesengula bantu kubaggya mu maka gaabwe era enteekateeka y’okusengula abantu eyogerwako tebagimanyi ng’abantu bwe baabadde boogera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...