TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lwe nalowooza ku ky'okuzimba ku ttaka lya kitaffe yadda mukambwe

Lwe nalowooza ku ky'okuzimba ku ttaka lya kitaffe yadda mukambwe

Added 7th August 2016

Lwe nalowooza ku ky’okuzimba ku ttaka lya kitaffe yadda mukambwe

 Omugenzi Sekiriwo na kati abaana ababonereza nga basobezza.

Omugenzi Sekiriwo na kati abaana ababonereza nga basobezza.

OMUGENZI Benjamin Sekiriwo yali musajja atanywa guteeka! Okumanya yali mukambwe yazimba ekkomera mu maka ge mwe yaggaliranga abaana be nga basobezza!

Obukambwe bw’omugenzi teyabukomya mu bulamu wabula ne gy’ali asinziriirayo n’ababonereza okusinziira ku mutabani we Dan Sekiriwo, 27.

Agamba: Twabeeranga ku kyalo Mawokota mu ggombolola y’e Bukuya mu disitulikiti y’e Mubende. Awaka twalingawo bangi kuba taata yakuza abaana abasukka mu 30 ate nga mu luwummula kiyitirira.

Yali musajja musuubuzi wa nte, ng’aziggya e Kyankwanzi n’azitunda e Bukuya nga kw’agatta okulunda n’okulima. Nga tannayingira busuubuzi n’okulima yaliko mu magye agaaleeta NRM mu buyinza era bwe yawummula n’atandika okukola ebibye. Ku kyalo baali bamumanyi ng’eyazirwanako.

Taata yali yazimba ennyumba nnene ddala nga ya bisenge mukaaga. Ku bisenge ebyo kwaliko kimu kye yali yafuula ekkomera era nga kiba kiggale essaawa yonna. Buli lwe kyaggulwanga nga tumanya lubadde, waliwo eyazizza omusango. Twalina ente eziwerera ddala awaka nga tuzirunda mu mpalo wabula ekimu ku byasinganga okumunyiiza n’atuuka okukuggalira mu kkomera, kwe kusuulirira okulabirira ente ze. Waliwo olunaku lwe sigenda kwerabira, taata yandagira okuliisa ente ne sikikola.

Bwe yandagira saabifaako ne ηηenda ku luguudo okulaba mmotoka. Ebiseera ebyo waaliwo bbaasi za UTC nga zidduka era twanyumirwanga nnyo okuziraba nga ziyitawo. Bwe nadda mu kulaba mmotoka ne nneerabira ente.

Olwadda awaka ne bantegeeza nti taata akuyita mu nnyumba! Namanyirawo ekimpisizza era nagenda okuyingira nasanga ekkomera liggule. Natambulirawo okutuuka mu kkomera lyaffe, abaali ebweru baawulira mirannga kuba yankuba kibooko ne ntuuka n’okugamba muli nti oba si y’anzaala!

Ate nga bw’akusibiramu atambula n’ekisumuluzo nga maama bw’ayagala okukuwa mmere agiyisa mu kadirisa akatono akaaliko. Mu kkomera wamalangayo ennaku bbiri oba ssatu okusinziira ku musango gw’okoze. Kino kyatuyigiriza okugondera amateeka n’obuteeyisa bubi kuba twatyanga okutusibira mu kkomera.

Ng’ekisinga okutuluma nga bw’oba mu kkomera n’owulira banno nga bazannya ebweru bakuba enduulu ng’okaabirayo. Wakaabanga bwe weegayirira taata akusonyiwe naye nga ne gwe weegayirira takuwulira.

Awaka twakula tumanyi nti omuntu bw’azza omusango alina kuggalirwa mu kkomera era kino kyalwawo okutuvaamu okutuusa lwe twajja ku kibuga. ANIYA AMUTUTWALAKO Taata bwe yaweza emyaka 80 yali agonze era wano we yafunira obulwadde bwa aniya obwamutta.

Twamujjanjabirako mu ddwaaliro e Mityana, ku kitanda yamalayo wiiki bbiri n’afa. Mu kiraamo kye, yalagira okumala ku nsi ennaku bbiri kisobozese abantu be abali ewala okumuziikako, era kino twakituukiriza.

Yalina ettaka erisoba mu mayiro era lino yatukuutira obutatundako yadde akagiiko wabula okulundirako nga ye bwe yakolanga. Yatukubirizanga okukola ennyo okusobola okwefunira ebyobugagga ebyaffe wabula si kwesigulira ku ye by’akoze.

AKOMAWO Bwe natuuka mu myaka egikola, ne nzijja ku kibuga okunoonya ekigulira Magala eddiba. Mu kibuga nafuna akazigo ke napangisa mwe nagwanga ne nneebaka ng’emirimu gigaanyi. Lumu mba ndi ku buliri nneemulugunya nga bwe nneebuuza ekyandeeta mu kibuga eteri mirimu, otulo gye twantwalira.

Mba nneebase ne ndaba taata, yali mu magetisi ze nga bwe yabeeranga ng’akutte omuggo. Yali mukambwe kye yava aη− ηamba, ‘Ggwe ssebo ebya ssente, tebeemulugunya bwemulugunya bakola bukozi, saagala oddemu kwemulugunya era bw’oba olowooza nti onodda mu kyalo okolere eyo ekyejo ku bintu byange, sigeza ne nkulaba’. Yambuuza nti, ‘Olowooza sisobola kukuggalira?’, bwe yayogera ekyo natya nnyo ne ntadika okukaaba nga mmwegayirira, nagenda okusisimuka nga ndi mu maziga.

Natya ng’ayogedde ku ky’okunzigalira era okuva olwo saddamu kwemulugunya ennaku ne bw’ennuma etya, mmanya nja kufuna kuba ekyo bwe kyantuukako natandika okukolera ddala era ssente nzifuna.

Bwe nafunawo ku ssente ne njagala okuzimba, ekirowoozo kye nasooka okufuna kyali kya kugenda mu kyalo nzimbe ku ttaka lyaffe. Kw’olwo lwe nkirowooza ekiro taata yanzijira era yayogera mu ddoboozi nga kkambwe ng’akutte n’omuggo ng’ogulunda ente n’aηηamba nti, ‘Nabaweerera ne musoma temulina kye mummanja, siddamu okukulaba ng’olowooza eky’okuzimba ku ttaka lyange.

Kwata ssente ogule ku kibuga ozimbire abaana bo kuba nze saazimba ku ttaka lya kitange. Ku makya nakeera kunoonya babbulooka ne bannoonyeza aw’okugula. Taata era yannyambako mu kufuna awantu awalungi kuba nalwawo okusiima nga buli we banfunira tewansanyusa. Yajja n’andaga w’ayagala ngule era ne ngulawo wadde sinnazimba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...