TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukyala afunye akabenje e Makerere n'amenyeka okugulu

Omukyala afunye akabenje e Makerere n'amenyeka okugulu

Added 8th August 2016

Omukyala afunye akabenje e Makerere n'amenyeka okugulu

 Abadduukirize ng'abayoolayoola omukyala eyafunye akabenje

Abadduukirize ng'abayoolayoola omukyala eyafunye akabenje

DEREEVA abadde avugisa ekimama ng’ayambadde lugabire akoze akabenje omu n'amenya omuntu omu okugulu  n’abalala ne bagenda n’ebisago.

Akabenje kano kaguddewo Makerere Kavule mu maaso ga Kolping Hotel   Takisi nnamba UAM 560N eyabadde  ewunyuka ng’akaweewo nga yabadde eva Bwaise  ng’edda  Kampala    kyokka bwe yatuuse e Makerere Kavule n'ayisa mmotoka ezamubadde mu maaso okukakkana ng’ayambalidde owa boda boda  Julius Ssekayiki avugira ku siteegi ya Katoogo e Busega Boda Boda  nnamba  UDS 711A eyabadde eva e Kampala ng’edda Bwaise.

Owa Boda yabadde alina  omusaabaze Justine Kabanyana omutuuze we Katooke ng’ono yamenyese eggumba ly’e kisambi  n’atwalibwa muddwaliro e Mulago ng’akaaba obulumi , Kabanyana okufuna akabenje yabadde adda waka .

Irene Nantume eyabaddewo mu biseera by'akabenje yategeezezza nti owa takisi yabadde ava  Bwaise  ng’adduka ng’ali ku High Way n'asalawo okuyisa mmotoka ezaamubadde mu maaso okukakkana ng’akonye owa Boda  eyabadde ava e Kampala , yagasseko nti  mmotoka eno yabadde ekubyeko abasabaze era ng’abenje kamaze okugwawo abamu baayise mu maddinisa  endabirwamu n’ezibasala .

Yayongeddeko nti abasajja ba takisi kirabika betaaga kukeberebwa mitwe kuba mu kifo we yayisirizza mu butuufu waabadde wafunda  nyo.

Yagambye nti oluguudo luno  lufuda naye ba dereeva  baluddukirako nga abali mu mmotoka z’empaka , yadde ng’abavubuka okw’abaade ne bamakanika baabadde batandise okwagala okubba ebyuma ku mmotoka eno by’abaasaze olwa tulafiki okwanguwako n’ebatangira  konndakita ne dereeva badduse mmotoka n’etwalibwa ku poliisi e Kawempe.

Francis Kana owa tulafiki okuva  e Kawempe yategeezezza nti  waliwo mmotoka ezitali mu mbeera nungi nga zino ba dereeva bazivuga kiro olw’okuba ku nguudo tekuba ba tulafuki bazikwata yakakasizza nti akabenje kano kaavudde ku Dereeva wa takisi eyabadduka endiima kyokka ng’ayambadde lugabire ezitakirizibwa kuvuga mmotoka .  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...