TOP

Akubye abaserikale abalemese okumusiba

Added 8th August 2016

Akubye abaserikale abalemese okumusiba

 Kaggwa ku poliisi.

Kaggwa ku poliisi.

AMOS Bali Kaggwa gwe baakwatidde mu bubbi acankalanyizza poliisi y’e Kiwatule bw’akubye abaserikale ababadde bamuyingiza akaduukulu ebikonde ng’agamba nti ye tagenda kusibwa.

Yakwatiddwa lubona ng’amenye ennyumba ya Moses Ali Higenyi ow’e Kiwatule akolera mu katale k’e Nakawa n’abbamu omufaliso, engoye n’emitwalo 2.

Higenyi agamba nti yakomyewo awaka ku ssaawa 5:00 ez’oku nkya n’asanga nga waggule n’omufaliso ogumu ku lubalaza.

Kaggwa yavuddeyo n’ayagala amukube ejjinja, omukuumi w’oku muliraano n’amutaasa ne bagoba Kaggwa ne bamukwata yogaayoga ku poliisi n’ebibbe. Ismail Mayanja, atwala poliisi eno, yagezezzaako okumusiba empingu n’amulemesa kwe kuyita banne ne balwana naye okumuyingiza akaduukulu nga bw’abakuba.

Yagguddwaako ogw’obubbi n’okukuba abaserikale ku fayiro SD:22/05/08/2016 e Kiwatule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lakiya n'omwana we eyakonziba.

Afande nfuba okuyiiya ng'om...

ABATUUZE batutte omukazi ku poliisi nga bamulanga butafaayo kulabirira omwana we ow’emyezi 7 n’atuuka okukonziba....

Omuserikale ng'akutte omu ku basajja abaakwatiddwa.

Bakutte abavubuka b'oku Kal...

ABASUUBUZI mu lufula y’oku Kaleerwe baloopye akabinja k’abavubuka akabadde n’ebissi nga kigambibwa nti babadde...

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...