
Nakitende ku poliisi.
OMUGOBA wa bodaboda eyaguze malaaya okwesanyusaamu akiguddeko, malaaya bw’amukubidde kalifoomu mu loogi n’amunyaga emitwalo 50 n’adduka kyokka poliisi n’esobola okumukwata n’ezimugyako.
Bino byabadde Nyanama mu loogi eyitibwa A&D, Vincent Ssekabira avugira ku siteegi ya Swale e Mutundwe gye yatutte malaaya Joan Nakitende mu kiro ekyakeesezza olwomukaaga nga yamuggye mu bidongo ku Kabuusu n’amutwala beesanyaseemu.
Ssekabira agamba malaaya ono yamusanze ku Kabuusu ku lwokutaano ekiro n’amucakaza ekiro kyonna olwo ku makya g’olwomukaaga n’asalawo amutwaleko ewuwe beesanyusseemu wabula olwatuuseeyo, Nakitende ne yeekyusa olw’okuba waabaddeyo omwana.
Beeyongeddeyo mu kaloogi akamu e Kitebi wabula Nakitende n’agaanayo ng’agamba nti alina loogi ye ennungi e Nyanama gy’amanyi olwo kwe kugenda mu loogi ya A&D.Agamba olwatuuse mu kasenge Nakitende ate n’ategeeza Ssekabira nti yabadde mu nsonga, Ssekabira n’asalawo abiveeko.
Ssekabira yategeezezza nti akaseera ako Nakitende yeefudde eyeekuba kalifuuwa we era awo ye we yakomye okutegeera n’addamu okutegeera ng’ali ku poliisi y’e Nyanama oluvannyuma lw’essaawa nnamba nga tamanyi biri ku nsi. Malaaya bamusuuza ssente Maneja wa loogi, Sepiriya Tumusiime agamba; “abaagalana bano bazze mu loogi ku ssaawa 12 ez’oku makya g’olwomukaaga ne bansaba akasenge ne basasula 10,000/-.
Wabula waabadde waakayita eddakiika nga ttaano zokka nga bayingidde ne mpulira omuntu akikiitanya geeti. Wano we natuukidde ne nsanga Nakitende ng’ayagala kufuluma naye ng’oluggi lumulemye okuggula.
Namubuuzizza ekimutwala amangu nga baakayingira n’antegeeza nti yabadde ali mu nsonga, munne kyatakkiriziganyizza nakyo era n’amuleka agende. Namuggulidde n’afuluma naye omutima ne gunkubira okulaba omusajja kwe kugenda mu kasenge ke nabawadde ne mmuzuukusa nga tanyega ne ndowooza nti bamusse.
Nadduse ku siteegi e Nyanama ne nsanga Nakitende ng’alinnya bodaboda ne nkuba enduulu aba bodaboda ne bannyambako okumukwata ne tumukomyawo ku loogi ne yeegaana nti talina ky’amukoze era ne yeefuula amuzuukusa.
Nagenze okulaba ng’aggyayo kalifuuwa mu kakebe mbu yeefuuyira. Nagenze okuwulira nga ntandise okuwunga kwe kuteeka ekikofiira kyange ku nnyindo ne mpita bannange ne bamusibira mu kasenge ne nziruka ku poliisi e Nyanama eyazze n’emukwata.
Akulira bambega ku poliisi e Nyanama, Munir Musoobo yategeezezza nti Nakitende bwe baamwazizza, ne bamusangamu ssente 280,000/- wabula n’ategeeza nti endala waliwo w’azikwese. Yasabye bamute agende azireete ng’ali yekka kye baagaanyi naye n’agaana okugendayo n’omuntu yenna. Yagguddwaako emisango egy’enjawulo ku fayiro SD: 05/06/08/16.