
Lukwago ne Besigye mu kkooti e Rukungiri
GAVUMENTI ereese abajulizi abalumirizza Dr. Kiza Besigye ne Loodi Meeya Erias Lukwago okujeemera ebiragiro bya poliisi ekyaleetawo akajagalalo abantu ne bakuba poliisi amayinja agaatuusa ebisago ku baserikale.
Eggulo oludda oluwaabi lwaleese abaserikale okuli, Bosco Arop eyali akulira poliisi y’e Kabale, eyali avuga mmotoka ya poliisi, Michael Sitenda n’eyali anoonyereza ku musango, Francis Mpirwe. Baategeezezza kkooti nti baagezaako okulaga Besigye ne banne ekkubo lye baalina okukwata ne bajeema ne basalawo okuyita mu kibuga wakati ekyavaako akavuyo.
Besigye ne Lukwago babavunaanira wamu n’omubaka Roland Kaginda owa munisipaali y’e Rukunguli, Ingrid Tulinawe akulira okukunga abantu mu FDC, Mubarak Munyagwa ( omubaka Kawempe South) ne Imamu Makumbi ng’oludda oluwaabi lwategeezezza nti omusango baaguzza July 14, 2012.
Omulamuzi Moses Nende Kagoda y’awulira omusango, oludda oluwaabi lwakulembeddwa Baston Baguma ate Bannamateeka ba Besigye ne banne baakulembeddwa Julius Galisonga.
Sitenda yategeezezza omulamuzi nti, baamukuba era yagenda okuddamu okutegeera ng’ali mu ddwaaliro e Makanga kyokka yagambye nti mu baamukuba teyalabako Besigye ng’amukuba. Mpire yagambye nti yalaba abawagizi ba Besigye nga boonoona mmotoka za poliisi bwe baali bajeemera ebyali bisaliddwawo poliisi.
Omusango guddamu August 20. Olwavudde mu kkooti abawagizi ba Besigye ne bayisa ebivvulu mu Kabaale.
Bwe baabadde basimbula okudda e Kampala, Lukwago n’awandiika ku mukutu gwe ku facebook ng’ategeeza nti okukomawo eka kyabadde kirungi kyokka nga yeeraliikirira oluguudo lw’e Masaka olufuuse akattiro.