TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita asonyiye mukazi we gweyakwatira mu bwenzi

Paasita asonyiye mukazi we gweyakwatira mu bwenzi

Added 18th August 2016

Paasita asonyiye mukazi we gweyakwatira mu bwenzi

 Harriet Ruhweza ne n'omwami Wilson Ruhweza

Harriet Ruhweza ne n'omwami Wilson Ruhweza

OMUSUMBA wa Kkanisa ya Divine Blesings Wilson Ruhweza asonyiye mukyala we Harriet Ruhweza n'amuteekako obukwakkulizo obukakali.

Abafumbo bano baafuna obutakkaanya oluvannyuma oluvannyuma lwa Pasita Ruhweza okugenda mu ggwanga ly'america n'amalayo ebbanga lya myezi ng'ali ku mirimu gya Mukama wabula agenda okudda yasanga mukyala we ayingiddemu omuze gw'obwenzi.

Abafumbo bano abamaze emyaka 20 mu bufumbo n'ezzadde ly'abaana 5 baafuna obutakkaanya oluvannyuma lwa mukyala Pasita okufuna omusajja omulala era oluvannyuma lw'okkwatibwa yatwaliba ku poliiis ye Bulagga gyeyava okutwalibwa e Bulenge gye baamuggulirako omusango ogw'okwonoona emmotoka y'omusirikale ng'ali n'omusiguze Stephen Kato omubuulizi w'enjiri.

Omusumba Ruhweza era nga ye Ssentebe wa basumba  mu kkanisa ezisangibwa mu kyaliwajjala ne Namugongo asangiddwa mu maka ge e Ssonde Namugongo ateegezazza  nti oluvannyuma lwokumala akaseera ng'asiba n'okusaba n'okuwabulwa okuva mu mikwano,abaana be n'abooluganda asazeewo asonyiwe mukyala we era n'amenyawo ne byo byonna bye yali agambye ku Poliisi nti takyamwetaaga ebyo byonna bwali busungu.

Ayongeddeko nti n'omusiguze Stephen Kato mmusonyiye kyokka  ebigambibwa nti tumanyiganye naye sibitufu .

"Okwonoona kwa buntu ate okusonyiwa kwa bwa Katonda  n'olwekyo nsazewo okusonyiwa mukayala wange tudingane wadde mu kiseera kino tanaba kukomawo mu maka ge,enteseganya wakati wange ,bakadde bange nga bakulembeddwamu  abasumba ba kkanisa ya God's Centre Blessings Bweyogere omwami n'omukyala Stephen Mugwanya.

Agamba nti mu kiseera kino mukyal we ali ne bakadde be kyoka nga mu kiseera kitono ng'etegeka ziwedde agenda ku muzza mu maka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Nansimbi (owookubiri ku ddyo) ne bba Dr. Jjagwe ku gumu ku mikolo egisembyeyo mu bulamu bwe.

Nnaabagereka akungubagidde ...

OMUDDUGAVU eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1975 okutuuka 1980, Berry Nansimbi Jjagwe...

Kabaka

Dr. Luyombya awabudde ku k...

DR. JACK Mukiibi Luyombya, omu basawo abakugu mu ddwaaliro lya Kampala Hospital era nga mukiise mu Lukiiko lwa...

Ssegirinya nga bamutwala mu kagaali.

Ssegirinya bamututte Nairobi

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde, Mohammed Ssegirinya eggulo ku Ssande baamutadde ku ennyonyi eyamututte e Nairobi...

Ekikomera ekyassibwa ku malaalo ga Basudde (mu katono).

▶️ We baaziika Basudde kati...

NGA wayise emyaka 24 ng'avudde mu bulamu bw'ensi, aba famire y'omugenzi Herman Basudde eyali nnakinku mu kuyimba...