TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omutegesi W'ebivvulu Abtex aggaliddwa mu kkomera

Omutegesi W'ebivvulu Abtex aggaliddwa mu kkomera

Added 18th August 2016

Omutegesi W'ebivvulu Abtex aggaliddwa mu kkomera

 Abtex ng'ali ku Poliisi Nateete

Abtex ng'ali ku Poliisi Nateete

OMUTEGESI w'ebivvulu Abbey Musinguzi amanyiddwa ennyo mu ggwanga  nga  Abtex asuze mu kaduukulu ka poliisi e Nateete  oluvannyuma lw’okukwatibwa lwa bbanja lya bukadde 114 okuva mu bantu basatu.

Abtex okukwatibwa  asangiddwa mu lukiiko ku Pope Paul mu Ndeeba n’abategesi b'ebivvulu abalala okubadde Promoter Emma,Kassim n’abakozi b'e Mmengo  nga bateesa ku nteekateeka z’empaka z’omupiira gw'amasaza ogwa kamalirizo ogugenda okubeera e Nambole ku Lw’omukaga.

Farouk Mutesaasira omusuubuzi wa mmotoka ku kibanda Kya Pine ku Lumumba Avenue ategeezezza nti aludde ng'anoonya  Abtex okuva omwaka oguwedde oluvannyuma lw'okumwewolako ssente obukadde 75 mu July kyoka n'amenya endagaano gye bali bakoze eyokumukkiriza okuzisolooza ku mulyango ku mupiira gw'amasaza omwaka oguwedde nga bwe bali balagaanye.

Agambye nti ono mu Mwezi gwa September omwaka oguwedde yamusasulako obukadde 30 n'asigala ng'abanja 45 era nga zino zeezimuviiriddeko okkwatibwa oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga yeekwese.

Abitex atwaliddwa ku poliisi ye Nateete gye basoose okwevumba akafumbo n'amubanja kyokka abadde akyali awo ne DPC we Katwe Hassan Musooba n'atuuka nga kigambibwa nti naye amubanja obukadde 52.

Mikwano gye girabiddwaako nga gyetala n’okukuba amasimu ag’okumukumu nga banoonya ssente basasule ku bamubanja basobole okumuyimbula ne bigaana.

Ebyo bibadde bikyali bityo abasajja abalala babiri ne bajja  ku poliisi nga balina ekiwandiko kya kkooti ekiragira okukwata kwa Abtex era ng'ebiwandiiko bya Kkooti  biraga nti John Baptist Lwasa ow'e Masaka abanja Abtex obukadde 17

Bano beegasse ku kafubo akabadde  kagenda mu maaso mu woofisi yakulira poliisi ye Nateete Muhammed Byansi akeetabiddwaako abasatu ababanja okuli ne DPC Musooba,OC Byansi ne Ephrahim Mutatina akolo ku kunonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi ye Nateete ne mikwano gya Abtex.

Poliisi egezezzaako okukkirizisa ababanja okukkiriza Abtex okweyimirirwa kyoka Lwasa n'agaana era n'alabula nti singa bamuyimbula baakulaba akamufaamu era bwatyo n'ateekebwa mu kaduukulu ku musango gw'okkozesa ensimbi mu lukujjukujju ku  Fayiro SD REF:48/17/08/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...