TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukululana ebadde etwala obuyambi egudde ku lw'e Masaka

Lukululana ebadde etwala obuyambi egudde ku lw'e Masaka

Added 19th August 2016

Lukululana ebadde etwala obuyambi egudde ku lw'e Masaka

LUKULULANA ekika kya Scania ebadde etwala obuyambi bw’ababundabunda eremeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo e Kaddugala ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala.

Scania nnamba UAX 064N ne UAD 435L mu kugwa erumizza byansusso omugoba waayo Sharim Habyalimana ng’ono addusiddwa mu ddwaliiro e Masaka gy’afunira obujanjabi.

Adduumira Poliisi mu Masaka ey’awamu Maxwel Ogwal ategeezezza nti akabenje kano kavudde ku bulagajjavu bw’omugoba wa lukululana okuvugisa eno eyavugisizza ekimama ku misinde egyayiriyiri.      

RPC Ogwal ategeezezza nti ddereeva Habyalimana emisinde gy’amulemesezza okuweta ekkoona ly’e Kadduggala bwatyo lukululana n’emuwabako nga kabuze katono okusaanyawo ab’omu maka ga Ahmed Kibira.

Ogwal agambye nti ekyana kya lukuluna mu kwefuula emipiira ne gidda ku wagulu kyonoonye ennyumba ya Kibira wabula nga Katonda yayambye n’etalumya bantu bagibeeramu olw’obutabasing’anirizaayo.  

Aynnyonnyodde nti lukululana eno ebaddeko ensawo 600 eza kasooli ow’empeke buno ng’obuyam bi buno bwabadde bw’ekibiina kya World Food Program nga baabadde babutwala mu bitundu by’e Rwanda.

Poliisi y’ebidduka yaleese mmotoka ya kasiringi n’egiggya n’oluvannyuma n’egitwala ku kitebe kyayo e Masaka ne kasooli gwe yawonyezza okubbibwa bakyalakimpadde wakukwasibwa aba World Food Program bamwongereyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...