TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuvuganya mu Premier kwa kunafuya ttiimu y'eggwanga eya Bungereza

Okuvuganya mu Premier kwa kunafuya ttiimu y'eggwanga eya Bungereza

Added 20th August 2016

Okuvuganya mu Premier kwa kunafuya ttiimu y'eggwanga eya Bungereza

 Lubega Farouk

Lubega Farouk

Mu liigi za bakirimaanyi ettaano mu Bulaaya, Premier y’esingamu okuvuganya. Ate sizoni eno kigenda kusukka olw’abatendesi abapya ate nga bayonta ba bikopo abagyegasseeko.

Pep Guardiola ali mu Man City, Jose Mourinho wa ManU, Jurgen Klopp wa Liverpool, Antonio Conte ali mu mitambo gya Chelsea, Mauricio Pochettino wa Spurs, Claudio Ranieri wa Leicester sso nga Arsene Wenger ali mu Arsenal nga bulijjo.

Ku batendesi abo bonna era nga kisuubirwa nti kwe kujja okuva anaawangula ekikopo kya sizoni eno, tekuli munnansi wa Bungereza era tekuli alimirirwa Bungereza ng’eggwanga. Abatendesi bano baatandikiddewo okulaga nti buli omu ayagala okulaga nti wa maanyi mu Premier oluvannyuma lw’okugula abazannyi obuwanana bw’ensimbi okuggumiza ttiimu zaabwe. Mourinho, yaguze Pogba ku bukadde bwa pawundi obusoba mu 100, Henrikh Mkhitaryan ne Eric Baily sso nga Zlatan Ibrahimovic yajjidde ku bwereere.

Guardiola naye aguze abazannyi ab’amaanyi sso nga ne Conte naye yeenywezezza. Ku ttiimu zonna omusanvu ez’amaanyi mu Premier, tekuli esibidde ku muzannyi Mungereza lukoba mu kampeyini eno.

Mu ManU, Rooney yaggwaamu, Man City okufaananako Chelsea, Liverpool ne Arsenal tezirina bazannyi Bangereza kwe zisibidde wabula bajjuuliriza bujjuuliriza ttiimu mwe bali. Kino kitegeeza nti ku batendesi bonna abayungudde abazannyi ab’amaanyi ate nga baguliddwa buwanana, tewali agenda kuleetamu Bangereza abatalina mupiira olw’okuba alumirirwa okuyamba ttiimu y’eggwanga lyabwe.

Guardiola yatandikiddewo okusenza Joe Hart ng'ate Bungereza kw’etandikira. Mourinho yalabudde Rooney obuteeyibaala nti alina ennamba mu ttiimu esooka era n’asazaamu eby’okuteesa ku ndagaano ye ate nga ye kapiteeni wa Bungereza. Sisuubira Wenger kufiira ku Walcott obwa Oxlade Chamberlain, Abangereza abayiwayo Arsenal buli mulundi olw’okuba ayagala ttiimu ya Bungereza ebeere ya maanyi.

Bwe guli ku Klopp owa Liverpool gwe nsuubira nti omuteebi Sturridge, amulinamu essuubi ttono ddala ku ttiimu y’eggwanga olw’okulwalalwala n’okuzannyisa ekyejo.

Ekibuuzo kiri nti, mu kuvuganya okweyongedde mu Premier ani akufiirirwamu? Eky’okuddamu kiri nti ttiimu ya Bungereza ey’eggwanga. Mbuusabuusa nti Sam Allardyce anaagamba Mourinho ow’embazuulu atuuze Pogba, olw’okuba Michael Carrick oba Jesse Lingard balina okuzannya.

Kino kigenda kunafuya ttiimu y’eggwanga etuuke okuzannya empaka ez’omuzinzi okuli ez’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2018 e Russia nga njabifu.

Abangereza kirungi bacacance olwa liigi yaabwe okuba ey’amaanyi naye bakimanye nti ttiimu yaabwe egenda kwongera okunafuwa. flubega@newvision.co.ug 0705173555

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....