TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukwe oluggya Loodi Meeya Lukwago mu woofiisi luzzeemu

Olukwe oluggya Loodi Meeya Lukwago mu woofiisi luzzeemu

Added 21st August 2016

Olukwe oluggya Loodi Meeya Lukwago mu woofiisi luzzeemu

 Ssalongo Erias Lukwago

Ssalongo Erias Lukwago

LOOYA Peter Muliira agambye nti ekifo kya Loodi Meeya Erias Lukwago tekiri mu Ssemateeka w’eggwanga n’awabula Gavumenti eggyewo ofi isi eno bunnambiro kimalewo entalo eziriwo mu Kampala.

Yagambye nti obuyinza bwonna obufuga ekibuga, Ssemateeka yabuwa Gavumenti teyabuzza mu mikono gya bakulembeze balonde.

Yagambye nti Kampala teyeetaaga mukulembeze mulonde wabula abakugu era ye alaba nti, minisita y’ateekwa okukulira Kampala. Bino yabyogeredde mu musomo ogwatekekeddwa mu Kampala ku Lwokutaano okukubaganya ebirowoozo ku nzirukanya y’ekibuga Kampala. Muliira yalambuludde nti Loodi Meeya tasobola kuba nga y’akulira olukiiko olutegekera ekibuga kubanga mu Ssemateeka ofiisi ye teriimu ate tatwalibwa ng’akulira abakozi ku ludda lw’ekikugu.

Obuyinza bwonna obuweebwa Loodi Meeya mu tteeka erifuga Kampala busaana bumuggyibweko kubanga takola mirimu gya kikugu. Yagambye nti Kampala yeetaaga olukiiko olutegekera ekibuga (Kampala Metropolitan Physical Planning Authority) kubanga ekibuga kiri mu mbeera mbi nnyo.

Omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ne minisita wa Kampala Beti Kamya.

Ebigambo bya Muliira bitabudde Loodi Meeya Erias Lukwago n’amulumba bubi ng’awagirwa Bameeya ba Divisozi zonna ettaano nti ebirowoozobya Muliira biri mu mutima mubi. “Ekikwata ku kumenya amateeka nze nfi irawo.

Ogamba otya nti ofi isi yange teri mu mateeka. Ky’ogamba nti nsansulwa ssente za Gavumenti mu bukyaamu. Lwaki kino kivaayo mu biseera by’entalo n’okukola ennongoosereza mu Ssemateeka.

Kino sisobola kukitwala ng’akantu akatono era bwe kiba kyetaagisa kufuna bakugu oba kugenda mu kkooti etaputa Ssemateeka tujja kutuuka kubanga mukulu wange (Muliira) era ebigambo bye bimu azze abyogera.

Lukwago yagambye nti Ssemateeka obuyinza bwonna yabuteeka mu bantu era etteeka erifuga Kampala limuwa obuyinza okutegekera ekibuga ng’ali n’olukiiko lwe. Lukwago yayanjudde by’ayagala bikolebwe okutereeza ekibuga;

1 Yagambye nti wadde etteeka eririwo liyinza okubeeramu ebituli naye basooke baligoberere. Buli muntu alina obuyinza obumuweebwa mu tteeka naye abamu baliyisaamu olugaayu ne bakola byabwe.

2 Kampala esseewo olukiiko olutegekera ekibuga n’ebitundu ebikyetoolodde okuli Mukono ne Wakiso. Omuntu azimba kaabuyonjo mu maaso g’omwala nga tewali amufaako. Omugagga agula olusozi lwonna n’azimbayo ebitakwatagana nga tewali amugambako n’ebirala.

3 Ekitongole kya KCCA okugoberera pulaani era nga ssente tezikyusibwa okuva ku kintu kye zaateereddwaako. Ennyingiza n’ensaasaanya biteekeddwa okulagibwa okukakasa oba ddala abantu bakola ebyo bye basabirako ssente za Gavumenti.

Ababaka ba Pulezidenti mu Munisipaali za Kampala. Ali ku ddyo ye Henry Kitambula owa Makindye.

4 Okussa mu nkola ebyo ebiba biteeseeddwaako era ne bikkaanyizibwako. EBYA MINISITA BETI KAMYA Yagambye nti bagenda kukola ennoongoosereza mu tteeka erifuga Kampala, amalirizza okukola entegeka ezissaawo olukiiko olutegekera ekibuga era lugenda kutandika mu bwangu, ayagala abakulembeze bonna abatwala Kampala okubatwala ewa Pulezidenti Museveni bamulage obwetaavu bwa ssente ze baagala mu Kampala azibawe.

Yagambye nti abakulembeze ba Kampala beetaaga okukolera wamu nga tewali alengezza munne kubanga ebigendererwa byabwe byonna bifaanagana. DAYIREKITA WA KAMPALA; Jennifer Musisi yategeezezza nti bo ng’obooludda olufuga ekikugu bakoze entegeka ezikulaakulanya ekibuga.

Omumyuka w’akulira okutegekera ekibuga Patrick Musoke ku lwa Jennifer Musisi yayanjudde nti, bakoze entegeka ya bbaasi ez’omulembe, okugaziya enguudo, okuleeta obumotoka obutambulira ku masannyalaze, bagenda kutumbula ebyobutale, ebyenjigiriza ne pulaani za Kampala ez’enjawulo.

OLUKWE lw’okugoba Lukwago luzze lulukibwa nga lwatandika na munnamateeka Peter Muliira okuwa bujulizi mu kakiiko akassibwawo nga kakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire okumunoonyerezaako gye yaweera ebirowoozo nti, ekifo kya Loodi Meeya wa Kampala kiggyibwewo.

Okuva olwo Gavumenti ezze eriko by’ekola okukyusa ebintu mu Kampala omuli n’okukendeeza obuyinza bwa Loodi Meeya oba okumuggyirawo ddala era nga mu bimu ku bino mwe muli:

1 Mu May w’omwaka guno, Abdallah Kitatta omuyima w’abavuzi ba bodaboda mu kibiina kya 2010 yakulemberamu bakansala ba KCCA bonna abaali baakamala okulondebwa n’abatwala ewa Pulezidenti Museveni ne bamusisinkana ne bateeseganya naye ku nsonga za Kampala era n’ababuulira kye yandyagadde okulaba mu kibuga.

Loodi Meeya Lukwago (ku kkono) ne Muliira

 

2Munnamawulire Mulindwa Muwonge yatwala omusango mu kkooti ng’awakanya okulondebwa kwa Loodi Meeya Lukwago ne bakansala ne Bameeya ba Divizoni ng’agamba nti baalondebwa mu bukyamu baateekeddwa okuva mu bifo byabwe.

3 Oluvannyyuma lw’okulonda okw’emitendera gyonna, pulezidenti Museveni yatandika okusisinkana ebibinja by’abantu ab’enjawulo mu Kampala n’abasuubiza okubawa ssente bakole emirimu era enteekateeka eno n’agikwasa Gen. Salim Saleh mu butongole. 4Gen. Salim Saleh yakuba enkambi mu wooteeri eyitibwa Serene Suits e Mutundwe gy’asisinkanira abantu naddala abava mu Kampala nga batwalayo ebizibu byabwe ng’abakolamu omulimu naddala okukyusa endowooza zaabwe mu byobufuzi ng’okuva ku by’okwekalakaasa okuwagirwa

Dr. Besigye ne Lukwago mu Kampala. 5Mu nkola eno, ebibinja omuli aba bodaboda, ab’obutale, abavuga takisi, abasuubuzi, abatembeeyi n’abantu ab’ebiti eby’enjawulo basisinkaniddwa ne beeyama okuwagira Gavumenti mu Kampala era ne babuulirwa obutaddamu kuwuliriza ludda luvuganya kubabuzaabuza.

6 Mu nkola eno, Muvumenti yeeyongedde amaanyi mu Kampala era mu kabineeti empya Pulezidenti Museveni ge yalonda, Kampala yamukwasa Betty Kamya ow’oludda oluvuganya Gavumenti asuubirwa okwanguyirwa okwogeraganya n’abantu abawakanya Gavumenti mu Kampala.

Muky. Betty Kamya olwatuula mu ntebe, yatandikirawo omulimu gw’okusisinkana abantu ab’enjawulo ng’abawa obubaka obw’okutandika essuula empya mu Kampala entalo zikome abakulembeze ne Gavumenti batandike okukolera abantu .

Mu kiseera kino Gavumenti eteekateeka okutwala okwanjula ennongoosereza mu tteeka erifuga Kampala era ng’ekimu ku bisuubirwa okukosebwa ennyo ye ofiisi ya Loodi Meeya ayinza okukendeezebwa ennyo obuyinza n’abamu balina ekirowoozo ofiisi ye eggyibwewo.

OLUKWE lw’okugoba Lukwago luzze lulukibwa nga lwatandika na munnamateeka Peter Muliira okuwa bujulizi mu kakiiko akassibwawo nga kakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire okumunoonyerezaako gye yaweera ebirowoozo nti, ekifo kya Loodi Meeya wa Kampala kiggyibwewo. Okuva olwo Gavumenti ezze eriko by’ekola okukyusa ebintu mu Kampala omuli n’okukendeeza obuyinza bwa Loodi Meeya oba okumuggyirawo ddala era nga mu bimu ku bino mwe muli: 1 Mu May w’omwaka guno, Abdallah Kitatta omuyima w’abavuzi ba bodaboda mu kibiina kya 2010 yakulemberamu bakansala ba KCCA bonna abaali baakamala okulondebwa n’abatwala ewa Pulezidenti Museveni ne bamusisinkana ne bateeseganya naye ku nsonga za Kampala era n’ababuulira kye yandyagadde okulaba mu kibuga. 2Munnamawulire Mulindwa Muwonge yatwala omusango mu kkooti ng’awakanya okulondebwa kwa Loodi Meeya Lukwago ne bakansala ne Bameeya ba Divizoni ng’agamba nti baalondebwa mu bukyamu baateekeddwa okuva mu bifo byabwe. 3Oluvannyyuma lw’okulonda okw’emitendera gyonna, pulezidenti Museveni yatandika okusisinkana ebibinja by’abantu ab’enjawulo mu Kampala n’abasuubiza okubawa ssente bakole emirimu era enteekateeka eno n’agikwasa Gen. Salim Saleh mu butongole. 4Gen. Salim Saleh yakuba enkambi mu wooteeri eyitibwa Serene Suits e Mutundwe gy’asisinkanira abantu naddala abava mu Kampala nga batwalayo ebizibu byabwe ng’abakolamu omulimu naddala okukyusa endowooza zaabwe mu byobufuzi ng’okuva ku by’okwekalakaasa okuwagirwa Dr. Besigye ne Lukwago mu Kampala. 5Mu nkola eno, ebibinja omuli aba bodaboda, ab’obutale, abavuga takisi, abasuubuzi, abatembeeyi n’abantu ab’ebiti eby’enjawulo basisinkaniddwa ne beeyama okuwagira Gavumenti mu Kampala era ne babuulirwa obutaddamu kuwuliriza ludda luvuganya kubabuzaabuza. 6Mu nkola eno, Muvumenti yeeyongedde amaanyi mu Kampala era mu kabineeti empya Pulezidenti Museveni ge yalonda, Kampala yamukwasa Betty Kamya ow’oludda oluvuganya Gavumenti asuubirwa okwanguyirwa okwogeraganya n’abantu abawakanya Gavumenti mu Kampala. Muky. Betty Kamya olwatuula mu ntebe, yatandikirawo omulimu gw’okusisinkana abantu ab’enjawulo ng’abawa obubaka obw’okutandika essuula empya mu Kampala entalo zikome abakulembeze ne Gavumenti batandike okukolera abantu . Mu kiseera kino Gavumenti eteekateeka okutwala okwanjula ennongoosereza mu tteeka erifuga Kampala era ng’ekimu ku bisuubirwa okukosebwa ennyo ye ofiisi ya Loodi Meeya ayinza okukendeezebwa ennyo obuyinza n’abamu balina ekirowoozo ofiisi ye eggyibwewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Adam Mulwana eyayimba Toka kwa Balabala.

Eyakubira Besigye oluyimba ...

MUSAJJA wa Dr. Kiiza Besigye, Adam Mulwana eyamuyimbira oluyimba lwa “Toka kwa bala bala” lwe yakozesa mu kulonda...

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Ensonga lwaki aba Nabilah b...

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba...

Akeedi

Ziizino akeedi ezitatuusa b...

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba...

Madoi

Wakiso Giants egoba bw'eyin...

WAKISO Giants FC mu liigi ya babinywera eyongedde okwenyweza nga yeetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ekansizza...

Vialli Bainomugisha

Onduparaka ereese Bainomugisha

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi...