TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Endowooza za balooya ku ky'okuggya Lukwago mu woofiisi

Endowooza za balooya ku ky'okuggya Lukwago mu woofiisi

Added 21st August 2016

Endowooza za balooya ku ky'okuggya Lukwago mu woofiisi

 Sseggona

Sseggona

BANNAMATEEKA baanukudde munnamateeka munaabwe Peter Muliira eyasembye okuggyawo ekifo kya Loodi Meeya ne bamutegeeza nti kino kikontana ne Ssemateeka. Joseph Luzige, ssentebe wa disitilikiti y’e Mityana yategeezezza nti kituufu Ssemateeka obuyinza bw'okuddukanya ekibuga yabuteeka mu mikono gya Gavumenti ya wakati, kyokka kino tekitegeeza nti abantu balina okuggyibwako obuyinza.

Luzige yagambye nti Ssemateeka obuyinza yabuwa bantu, ng'okubaggyako omukisa ogwerondera Loodi Meeya obeera obaggyeeko obuyinza bwabwe. Munnamateeka yagambye obuzibu obuli mu kibuga bwaleetebwawo tteeka eryafuula Loodi Meeya omukulu w’ekibuga, kyokka Dayirekita ne bamuwa obuyinza bungi ku mirimu gy’ekibuga.

Yasabye wabeerewo ennongoosereza mu mateeka, kibeere nga Loodi Meeya ng'omukulembeze omulonde alina obuyinza obusinga. Amaanyi ga Loodi Meeya galina okwongerwako, nga bwe kiri mu Gavumenti zeebitundu gye kirambikiddwa nti ssentebe wa disitilikiti y'ali waggulu w'akulira abakozi (CAO).

Omulimu gwa kkanso gwa kuleeta biteeso ebiri mu mateeka ne babiyisa, olwo CAO n'asigalira kulaba ng’ebiyisiddwa bissibwa mu nkola kuba y'avunanyizibwa ku nsasaanya ya ssente za Gavumenti zonna.

Munnamateeka Medard Seggona (Busiro East) yagambye nti, ebya munnamateeka munne bimenya amateeka. Yagambye nti ennyingo ya Ssemateeka eya 176 ekirambika bulungi nti obufuzi bujja kutambuliranga mu nkola y'okussa obuyinza wansi mu bantu (decentralisation). Kino kitegeeza nti tewali ngeri gy’oyinza kuwa bantu b’e Wakiso buyinza obwerondera abakulembeze ate ab’e Kampala n'obubaggyako.

Yagambye nti Gavumenti yaweebwa obuyinza okufuga ekibuga, kyokka balina kukikola nga bayita mu bakulembeze abalonde. Yagambye nti abaagala okuggyawo ekifo kya Loodi Meeya balina kusooka kuddayo ne bakyusa ennyingo ya 176.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...