
Bya WASSWA B. SSENTONGO
Abatuuze b’e Kasalirwe mu ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso beeroledde amajjankunene, bwe basanze abaagalana nga basinda omukwano mu Kkanisa.
Gerald Turikuruzize, 35, ne Tereza Nakirijja, 67, abatuuze b’e Kasalirwe bwe baasangiddwa nga banyumya akaboozi mu kkanisa ya St. John (Church of Uganda) e Kasalirwe ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri.
Abaagalana bano baasoose kugenda mu kirabo ky’omwenge ewa Maama Nalweyiso ng’eno gye baavudde n’ejjakirizi okudda awaka beemale eggoga wabula omukwano ogwabadde gubaboyaanya ne gutasobola kubatuusa waka, okukkakkana ng’omuvubuka aganzise omukadde (atuuse n’okumuzaala) mu kkanisa, gye baabakwatidde. Akawale ka Nakirijja aka ppinka (pink) baakasanze kagudde eri wamu ne ssappule ye.
Ekkanisa eno teriiko nzigi kuba tennaggwa kuzimbibwa.
Fred Ssentamu, asula okumpi n’ekkanisa eno, yategeezezza nti yawulidde ttabbulu efubutuka mu kkanisa n’asooka kulowooza nti oba waliwo abalwaniramu.
Yakutte ttooci n’agendayo era okumulisa bw’ati nga ku mukadde Nakirijja ne Turikuruzize beegadangira mu ssinzizo, lye bafudde loogi!
Ng’abatuuze bakung’aanye, Nakirijja yatandise okuyomba nga bw’ababuuza ebibuuzo eby’okumukumu bamubuulire etteeka erigaana abaagalana okwesanyusa mu kifo n’ekiseera kyonna we baagalidde.
Abatuuze bino tebaabigumiikirizza kwe kukun
guzza bakaggwensonyi bombi ne okubatwala ku poliisi e Matugga ne baggalirwa.
Atwala poliisi eno, Robert Tashobya yategeezezza ng’abakwate bano bwe bagguddwaako omusango oguli ku fayiro nnamba SD:03/23/08/2016.
Omu ku batuuze, Innocent Twinamasiko yagambye nti guno mulundi gwakusatu ng’omuvubuka ono Turikuruzize asangibwa yeegadanga n’abakadde nga kirabika abanoonyaamu ssente.
Ye Ssaalongo Swalik Kazibwe yagambye nti okugwenyuka okucaase ebiro bino kuva ku bavubuka kukozesa biragalalagala, abamu ne baganza n’abakazi abali mu myaka gya bannyaabwe.
Ate John Walakira kino yakitadde ku bakazi abasusse ‘okukuula’ abasajja ne kiwaliriza abasajja okuganza bannamukadde n’abakazi abakulu abataabakuule.