TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga atabuse n'abagambibwa okusenga ku ttaka lye;Bamwanukudde ne bamulangira obufere

Omugagga atabuse n'abagambibwa okusenga ku ttaka lye;Bamwanukudde ne bamulangira obufere

Added 27th August 2016

Omugagga atabuse n'abagambibwa okusenga ku ttaka lye;Bamwanukudde ne bamulangira obufere

 Abatuuze batabukidde omugagga lwa ttaka

Abatuuze batabukidde omugagga lwa ttaka

OMUGAGGA yatabuse n’abatuuze bagamba nti beesenza ku ttaka lye ne bamulangira okuba omufere ate omubbi ayagala okutwala ebibanja byabwe ng’akozesa olukujjukujju. Hajji Abdu Ssimbwa yavudde Kampala n’atwala tulakita e Kayanja, Bukulula mu Kalungu ne zisenda ettaka nga n’ekkubo abantu lye babadde bakozesa nalyo yalizibye.

Abeebibanja ababadde bagugulaana ne Hajji Ssimbwa bwe baalabye ng’ettaka alisenze ne bamuggulako olutalo nga beekunze ne bakwata enkumbi n’amajambiya era bazzaawo ekkubo lye yabadde azibye.

Hajji Ssimbwa yatidde okubahhanga n’addukira ku poliisi n’afuna abaserikale be yaleese bamuyambeko. Abatuuze bwe baalabye poliisi kwe kuddukira mu bakulembeze baabwe nga nabo baayanguye okutuuka. Poliisi yakulembeddwa, ASP Lillian Babirye ng’abakulembeze baakulembeddwa omubaka omukazi owa Kalungu Aisha Ssekindi, baatuuzizza olukiiko olw’amangu mu kifo kye bakaayanira n’ekigendererwa eky’okukakkanya embeera.

Baabasabye okukwata ensonga mu bukkakkamu wabeewo okutegeeragana nga tebatwalidde mateeka mu ngalo ekiyinza okubatwaza mu kkomera. Abatuuze baannyonnyodde nti ensonga ezibaggulumbya ne Hajji Ssimbwa esooka ya kubazibira kkubo n’abakaluubiriza naddala abaana baabwe abagenda okusoma so ng’ekubo yalisangawo nga tannagula ttaka.

Nnamwandu Annet Nyanzi ne Mariam Biyinzika bazze ebiyengeyenge nga balumiriza Hajji Ssimbwa okubatwalako ebibanja byabwe. Hajji Ssimbwa yeegaanyi n’agamba nti talina kibanja kye yatutte kuba tulakita yalimye ekitundu omutabadde nnimiro z’abantu kuba amanyi ettaka lino okuva bw’amaze emyaka munaana ng’aliguze.

Wano abatuuze beeyongedde okuva mu mbeera ne bamuweereza ebigambo nga bwe beewera nti waakiri okufa naye tebajja kukkiriza kubanyigiriza.

Omubaka Ssekindi yakangudde eddoboozi n’acoomera Hajji Ssimbwa nti tagezaako okuzannyira ku batuuze okutuusa ng’ebiwandiiko bye byekenneennyezeddwa. “Tetuzze kuzannya, Hajji ku ssaawa eno toli nnannyini ttaka mutuufu okutuusa ng’obwerufu buvuddeyo era tomala gasindiikiriza bantu wadde okuziba oluguudo”,Ssekindi bwe yakkaatirizza.

Bakkaanyizza ensonga zongere okutunulwamu nga bakolagana n’omubaka wa Gavumenti e Kalungu Hajji Abubaker Lubega Kaddunnabbi n’omumyuka we Hajati Sarah Nyanzi. Bagamba nti tebaagala bantu kunyigirizibwa nga bagobebwa mu bukyamuku bibanja byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...