TOP

ABALOKOLE BASITUDDE OLUTALO KU SUPREME MUFTI

Added 28th August 2016

ABALOKOLE BASITUDDE OLUTALO KU SUPREME MUFTI

 Ksule Ndirangwa

Ksule Ndirangwa

ABALOKOLE bavuddeyo ne balumba Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa n’omubaka Latiff Ssebaggala okukomya okuwagira Bamaseeka abatyoboola Baibuli nga nabo bwe batandyagadde muntu atyoboola Kulaani.

Mu kiwandiiko kye baafulumizza, abalokole abeegattira mu kibiina ekiyitibwa Bible Evangelism Ministries, balumiriza nti waliwo Bamaseeka basatu okuli Abdallah Walugembe, Abdallah Ibrahim, wamu ne Wahab Kirabira abaawandiika ebitabo ebivvoola Baibuli n’Obukulisitaayo.

Abalokole balumiriza nti Supreme Mufti yavaayo ne yeebaza Bamaseeka bano okuwandiika ebitabo bino era ng’alaga nga bwe baakola omulimu omulungi kyokka ng’ebitabo ebiwaanibwa bityoboola. “Twagala kitegeerekeke nti tuvuddeyo okulwanirira enzikiriza yaffe ku lw’Abakulisitaayo bonna mu ggwanga,” abalokole bano bwe baategeezezza.

Mu bimu ku bitabo ebyawandiikibwa bye balumiriza nti bityoboola Baibuli kuliko emitwe nga ‘Okubatiza si kiragiro kya Katonda’, ‘Obukulisitaayo bwazimbibwa ku musingi gwa sitaani’, ‘Obulimba obuli mu Baibuli’, ‘Obusiraamu mu Baibuli’, ‘Ensobi eziri mu Baibuli’, ‘Obulokole musingi gwa sitaani’.

Paasita Bugingo

Baakiggumizza nti Katonda waabwe gwe basinza owa Baibuli si ye Allah owa Kulaani era ne Issa wa Kulaani si ye Yesu wa Baibuli. Baaweze nti bajja kugenda mu maaso n’okusomesa abantu baabwe baleme kuwubisibwa.

Supreme Mufti ayogedde Sheikh Ndirangwa bwe yatuukiriddwa, yagambye nti tebagaana balokole kusinza mu ddiini yaabwe, naye kye batayinza kukkiriza , by’ebikolwa ebivvoola Obusiraamu ng’omuli okulinnya ku Kulaani, okuvuma Nabbi Mohhamad, n’okwambaza abatali Basiraamu enkoofi ira z’Obusiraamu.

Yagambye nti abalokole bonna bino tebabikola naye waliwo obubinja obumu obukola bino ng’abalokole abamu abaalabibwako mu ppaaka za takisi gye buvuddeko baalinnya ku Kulaani n’okutyoboola Nabbi Muhhamad.

Yagambye nti kino kino ekyasa kya kukuuma Mirembe, buli muntu asaana akuume emirembe. LATIF SSEBAGGALA Omubaka Ssebaggala owa Kawempe North era nga ye Imaam wa palamenti, yagambye nti yawandiikira dda Ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kaihura ku bikolwa by’abalokole eby’okusosonkereza ebiyinza okuvaamu okutabula emirembe.

Yawa eky’okulabirako eky’olukungaana lw’abalokole olwategekebwa e Iganga, abantu bwe baalinnya ku Kulaani ne bagityoboola. Yayongeddeko nti era Abalokole baategeka enkungaana ez’enjawulo mu maaso g’emizikiti nga bino byonna bigendererwamu kusoomooza ye ky’alowooza nti bwe kitakolwako mangu kiyinza okuvaamu ebitali birungi ate ng’eggwanga lyettanira mirembe.

Yagambye nti talina buzibu na muntu kusoma Kulaani bw’abeera tavvodde.

OMUSUMBA ALOYSIUS BUGINGO

Yagambye nti Kulaani ne Baibuli byonna bitabo bya lukale kyokka ekibi kwe kubikozesa okubuulira nga tobimanyi era oluusi ng’olina n’ekigendererwa ky’okuvvoola. Yagambye nti tasuubira nti waliyo ekkanisa eyandyagadde okubuulira nga bakozesa Kulaani nga bw’atasuubira nti waliyo ayinza okubuulira mu muzikiti ng’akozesa Baibuli. Yavumiridde enkola y’omuntu okubuulira ng’ovvoola eddiini endala mu madiini gonna.

Latif Ssebaggala

 

OMUSUMBA GODFREY LUWAGGA Ono ye yagambye nti Baibuli esobola bulungi okwemalirira era tewali bwetaavu bwa mulokole kubuulira ng’akozesa Kulaani. Era asuubira nti Kulaani esobola okuyimirirawo yokka ng’omuntu takozesezza Baibuli. Yakiggumizza nti twetaaga nnyo emirembe okusinga byonna n’awa amagezi nti buli ddiini yandinyweredde ku kitabo kyayo. Yawabudde nti ebintu bibiri ebitasaana kuzannyirako okuli eddiini n’eggwanga.

SHEIKH SUMAIMAN KAKEETO Yawabudde nti omuntu okumusikiriza okuyingira eddiini yo, tekyetaagisa kumala kuvvoola mulala oba okumuvumirira. Mu mbeera eno ye tayinza kulinnya ku Baibuli olw’okuba ayagala omuntu asiramuke. Yagambye nti Obusiraamu tebukkiriza kunaawuula ntalo wadde okusosonkereza kyokka bukkiriza okwerwanako ng’olumbiddwa.

Yayongeddeko nti era wadde Kulaani ekkiriza okwerwanako, naye era eragira nti osooka kwetegereza ebinaava mu kwerwanako. Yasabye abantu okukuuma emirembe nga buli ddiini tesosonkereza ginne waayo.

POLIISI EWABUDDE Andrew Felix Kaweesi, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga yagambye nti, “bwe wabaawo obutakkaanya mu madiini bulina kumalibwawo mu Kuteesa okwewala embeera ereeta obunkenke mu bagoberezi”. Yasuubiza nti poliisi egenda kukwatagana n’abakulembeze b’enzikiriza zombi bamalewo obutakwatagana buno mu Mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...