TOP

Afudde muntiisa n'aleka bbebi wa wiiki bbiri

Added 28th August 2016

Afudde muntiisa n'aleka bbebi wa wiiki bbiri

 Omugenzi Nakato

Omugenzi Nakato

NNAKAWERE abadde anaaba, puleesa n’emukuba n’agwa mu kinaabiro n’afa n’emulesa bbebi wa wiiki bbiri. Omugenzi Christine Nakato Ssekigongo 34, mukyala wa maneja w’ettaka lya yunivasite e Ndejje, Ying. Patrick Ssekigongo yabadde anaaba ku Lwokusatu, gye yagwiridde oluvannyuma lwa puleesa okumukuba n’addusibwa mu ddwaaliro e Nakasero gye yafi iridde ku Ssande. Mukwano gw’omugenzi era muliraanwa, Florence Nakamya agamba: Nakato abadde yaakazaala abaana basatu abawala ng’abazaalira ku biso.

Ku mwana ono asembyeyo omulenzi, olubuto lwamuluma kiro ssaawa nga 6:00 ne tulemererwa okumutwala mu ddwaaliro eddene kwe kusalawo tumudduse mu kalwaliro akamu mu Ndejje. Ku luno yazadde bulungi nga talongooseddwa era n’asiibulwa nga talina mutawaana gwonna.

Nga waakayita wiiki bbiri bukya azaala, ate yagenze kugwa ng’anaaba era olwamutuusizza mu ddwaaliro omusawo yagambye nti obuzibu bwavudde ku mugenzi okuba nga yakozesa amaanyi mangi okusindika omwana ng’ate bulijjo balongoosa mulongoose.

Kino kyaleetera puleesa okulinnya buli ddakiika nga kino kye kyamusse.” Bba Ying Ssekigongo agamba: N’okutuusa kati sikkiriza nti Christine yafudde naye nnina okuguma ng’omusajja.

Abaana naddala ono asoma mu bbebi Joella buli lw’aηηamba nzuukuse maama amuwe amata ate amaziga gampitamu buyisi”. Omugenzi abadde musomesa mu Ndejje Day Vocational School, Naalinnya Lwantale ne St. Johns High School era ng’abadde akola nga siniya metulooni mu masomero gano.

NNAKAWERE abadde anaaba, puleesa n’emukuba n’agwa mu kinaabiro n’afa n’emulesa bbebi wa wiiki bbiri. Omugenzi Christine Nakato Ssekigongo 34, mukyala wa maneja w’ettaka lya yunivasite e Ndejje, Ying. Patrick Ssekigongo yabadde anaaba ku Lwokusatu, gye yagwiridde oluvannyuma lwa puleesa okumukuba n’addusibwa mu ddwaaliro e Nakasero gye yafi iridde ku Ssande. Mukwano gw’omugenzi era muliraanwa, Florence Nakamya agamba: Nakato abadde yaakazaala abaana basatu abawala ng’abazaalira ku biso. Ku mwana ono asembyeyo omulenzi, olubuto lwamuluma kiro ssaawa nga 6:00 ne tulemererwa okumutwala mu ddwaaliro eddene kwe kusalawo tumudduse mu kalwaliro akamu mu Ndejje. Ku luno yazadde bulungi nga talongooseddwa era n’asiibulwa nga talina mutawaana gwonna. Nga waakayita wiiki bbiri bukya azaala, ate yagenze kugwa ng’anaaba era olwamutuusizza mu ddwaaliro omusawo yagambye nti obuzibu bwavudde ku mugenzi okuba nga yakozesa amaanyi mangi okusindika omwana ng’ate bulijjo balongoosa mulongoose. Kino kyaleetera puleesa okulinnya buli ddakiika nga kino kye kyamusse.” Bba Ying Ssekigongo agamba: N’okutuusa kati sikkiriza nti Christine yafudde naye nnina okuguma ng’omusajja. Abaana naddala ono asoma mu bbebi Joella buli lw’aηηamba nzuukuse maama amuwe amata ate amaziga gampitamu buyisi”. Omugenzi abadde musomesa mu Ndejje Day Vocational School, Naalinnya Lwantale ne St. Johns High School era ng’abadde akola nga siniya metulooni mu masomero gano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...