TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawambye omwana ne basaba ssente okumuzza nga mulamu

Bawambye omwana ne basaba ssente okumuzza nga mulamu

Added 30th August 2016

Bawambye omwana ne basaba ssente okumuzza nga mulamu

 Ssekaayi taata w'omwana eyawambiddwa nga bimusobedde

Ssekaayi taata w'omwana eyawambiddwa nga bimusobedde

OMUWALA baamunonye okuva awaka ne bamubuzaawo oluvannyuma ne bakubira bazadde be essimu nga babalagira baweeyo ssente basobole okumubawa nga mulamu!

Rehema Nakato, 14, muwala wa Musitafa Ssekaayi e Jjokolera, mu Ggombolola y’e Nangabo mu Wakiso baamuggye waka akawungeezi kati emyezi kumpi mukaaga talabikako.

Mulongo munne Yudayah Babirye yategeezezza nti akawungeezi munne lw’abula baalaba omusajja ng’ayimiridde ku lusebenju era mu kiseera kyennyini Nakato we yabulira. Musitafa Ssekaayi taata w’abaana yagambye nti abaana yabaleka awaka ng’agenda okukola, okudda eka akawungeezi nga Nakato taliiwo era bwe yabuuza banne nabo nga bagamba nti tebamanyi gy’alaze.

“Nalaba obudde bugenda ng’omwana takomawo kwe kuddukira ku poliisisi e Wattuba ne tuggulawo omusango ku fayiro SD: 07/02/03/2016. Tunoonyezza buli we tusuubira omwana talabika” Ssekaayi bwe yannyonnyodde. Ekyantabudde, ku nkomerero ya wiiki ewedde, waliwo omusajja eyankubidde essimu ku nnamba 0786604010, nambuuza nti: Ssebo ggwe nnannyini mwana ono Nakato?

Olwamwanukudde n’antegeeza nti, ‘njagala ssente nkuwe omwana wo nga mulamu kyokka bwe namubuuzizza ssente mmeka n’aggyako essimu’. Nazzeemu okumukubira nga takwata n’okutuusa eggulo twabadde tugikubako ng’eyitamu naye nga takwata.

Twazzeeyo ku poliisi ne tubategeeza ne batutegeeza nti bagenda kwongera okunoonyereza okuzuula ekituufu. “Mu Marach nava ku dduuka okutuuka eka akawungeezi nga muwala wange Nakato. Bwe nabuuza ne Babirye nga tamanyi munne gy’ali ne tutandikirawo okunoonya mu kitundu ne ku byalo ebiriraanyeewo nga Kawanda ne ku siteegi Ewattindo naye nga talabikako.” Omwana abadde asoma ku Musa Islamic School e Kyebando.

Kitaawe agamba batambudde okunoonya ku poliisi ez’enjawulo okuzuula oba waliwo eyaloopyeyo ku mwana naye talabikako. Agamba baatuuka ne mu kyalo e Butambala gye baabadde bamusuubira nti osanga gye yagenze nga taliiyo.

 Nakato eyawambiddwa

NAKATO ALI LUDDAWA!

Ssekaayi yategeezezza nti baasooka kuteebereza nti osanga waliwo omuvubuka ku kyalo eyali abuzizzaawoi muwalawe kyokka tebakakasa ani ali mu kkobaane. Baliraanwa bagamba nti abaana bano baali tebatambula tambula ku kyalo nga lwe bavuddewo bagenda na kitaabwe ku dduuka oba okugenda ku muzikiti okusaala.

Basabye poliisi eyongeremu amaanyi mu kunoonya omwana abazadde basobole okukkakkana omwoyo. Nakato ne Babirye baafaanagana nnyo ne kitaabwe olumu abadde abatabula ng’ayinza okuyita Nakato mu kifo kya Babirye. Omusajja Babirye gwe yalaba yali ani? Wano waliwo akabuuza bw’abeera nga si ye muvubuka gwe bateebereza.

Emirundi egiyise, abawala bazze bawambibwa nga Joan Namazzi eyali omuyizi ku St. Marks college e Namagoma gwe baawamba mu 2014 ne basaba bazadde be ssente bwe bataaziweereza baasanga mulambo.

James Kailu akola ku musango guno ku poliisi e Wattuba yategeezezza nti Ssekaayi yaloopa omusango gw’okubula kw’omwana we era kati ke bafunye amawulire nti waliwo akubye essimu bagenda kukwatagana ne taata w’omwana okulaba nga bagenda mu maaso n’okunoonyereza okuzuula omwana gy’ali.

ABAWALA ABAZZE BAWAMBIBWA:

July 2015, Desire Mirembe omuyizi e Makerere yawambibwa ne bamutta omulambo ne bagusuula mu bikajjo e Lugazi. lMay 2015, Diana Beatrice Mudondo omuyizi ku MUBS e Nakawa baamuwambye ne bamusobyako ne bamutta.

lNovember 2014, Omusuubuzi Esther Ddamulira 41 yava awaka e Kyebando omulambo ne bagusuula e Busunju. lJanuary 2014, Rachael Babirye ow’e Mpereerwe baamusobyako ne bamutta. lOctober 2014, Ruth Nabulya 14, ow’e Birongo Makindye baamuteega ava kulaba TV ne bamusobyako ne bamutta.

March 2014, Joan Namazzi eyali asoma mu St. Marks e Namagoma baamuwamba ne bamusobyako ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...