TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ng'enda kussaawo ekyuma ekirondoola abagwira - Trump

Ng'enda kussaawo ekyuma ekirondoola abagwira - Trump

Added 30th August 2016

Ng’enda kussaawo ekyuma ekirondoola abagwira - Trump

 Trump

Trump

ENKYA ku Lwokusatu Donald Trump lw’awa ekyenkomeredde ku by’okugoba abagwira mu Amerika ssinga awangulwa obwapulezidenti.

Alemeddeko nti agenda kuteekawo ekyuma ekirondoola abagwira abaweebwa Visa ne ziggwaako kyokka ne balemera mu Amerika.

Yagambye nti olumala okulayira ku bwapulezidenti, abamenyi b’amateeka abagwira waakubazza gye baava era ajja kukwata abamenyi b’amateeka abalala abayimbuddwa ku mulembe gwa Obama ne Clinton.

Yannyonnyodde nti Abamerika bwe bamulonda, babeera basize mu bukulembeze obukuuma amateeka kyokka okulonda Clinton kitegeeza kuggula nsalo z’Amerika abagwira n’abakyamu beetaaye.

Agattako nti abagwira obukadde 11 ayinza okusazaamu eky’okubasindiikiriza kyokka ayagala bongere okwetegereza enkola ebaddewo nti omwana gwe bazadde afuuka munnansi wa Amerika omujjuvu newankubadde bazadde be baliyo mu bukyamu.

Ayagala abagwira abaliyo mu bukyamu balekere awo okubawa eddembe eryenkanankana n’erya bannansi.

Trump yayongedde okusoomooza Clinton nti lipooti ekwata ku bulamu bwe gye yalaga abantu ya bulimba n’amusaba ateekeyo lipooti ennambulukufu abantu balonde nga buli omu ategedde obulamu bwe. “Njagala nze ne Clinton buli omu aleete ebikwata ku bulamu bwe mu bujjuvu. Ekyo sikirinaamu buzibu naye Clinton akyebalama,” buno obubaka Trump yabutadde ku mukutu gwe ogwa twitter.

Olukuηηaana Trump mw’agenda okwogerera ku nsonga y’abagwira lwakubeera mu Arizona enkya ku Lwokusatu.

CLINTON AGGYEEYO ENJALA

Hillary Clinton akubye obulango bw’asaasaanya mu bitundu Trump gy’ategeka enkuηηaana n’alagira abaddugavu n’abagwira nti Trump by’abagamba bya kiralu abakwenyakwenya bamuwe akalulu abeefuulire nga bamulonze, abagobe.

Gye buvuddeko Trump bwe yabadde agenze mu baddugavu be yasuubiza okugoba, yababuuzizza nti: Bwe munnonda mufi irwa ki? Wano Clinton w’asinzidde n’abasaba babuuze Trump ng’agenzeeyo nti; Bw’otwesonyiwa ofi irwa ki?

Obulango bulaga Trump nti musosoze mu langi n’emisango emingi gy’alina mu kkooti e New York olw’okulemwa okuwa embalirira ku ssente z’ayingiza n’abba emisolo gy’eggwanga okuva mu myaka gya 1970.

Obulango Clinton abukuba mu masaza okuli: Florida, North Carolina, Ohio ne Pennsylvania. Trump naye afulumizza akatambi akaakwatibwa mu 1990, Clinton bwe yali akubaganya ebirowoozo ku tteeka ly’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’agamba nti abaddugavu be babasibyeko ebikolwa bino bwe yabayita “super-predators”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa nga akwasa abamu ku batuuze ente omwabadde n'ab'enzikiriza ez'enjawulo. Babadde ku kigo e Mirembe Maria EKIF LUKE KAGIRI

Agabye ente 50 n'alangirira...

Essaza lya Kiyinda Mityana lirangiridde kaweefube ow'enjawulo ow'okukulaakulanya abantu mu byenfuna n’ebyobulamu...

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...