TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Ssempijja alabudde abeenyigira mu nvuba embi

Minisita Ssempijja alabudde abeenyigira mu nvuba embi

Added 5th September 2016

Minisita Ssempijja alabudde abeenyigira mu nvuba embi

 Minisita Ssempijja ng'ali n'abamu ku bantu abeetabye mu lukiiko

Minisita Ssempijja ng'ali n'abamu ku bantu abeetabye mu lukiiko

ABAVUBI okuva mu bitundu by'eMasaka baloopedde minisita engeri abakungu ba Gavumenti gye beenyigidde mu kwonoona ennyanja nga bayita mu kuwagira envuba embi.

Bagamba nti enkola y’okuvuba obwennyanja obuto n’okukozesa ebitimba ebitakkirizibwa  mu kuvuba naddala ebitimba bya kokota bisinze kujjumbirwa bakungu ba Gavumenti.

Bwe baabadde mu lukung'aana lw'abavubi olwakuliddwa minisita w'ebyobilimi n'obulunzi, Vicent Bamulanzeeki Ssempijja ku Serena Hotel e Rakai mu Kaliisizo, akulira abavubi Patrick Masenda, yategeezezza nti abakungu ba Gavumenti be basingidde ddala okuwoma omutwe mu kuwagira okuvuba obwennyanja obuto ne babukukusa okubutwala e Congo ate ne Gavumenti ekimanyi bulungi naye tebafaako.

Masenda ayongeddeko nti embeera eno bbo ng'abavubi bagezezzaako okugirwanyisa kyokka n'abalemerera olw'okubula omukono ogw'amaanyi ogubayambako. 

Wabula Ssempijja yategeezezza nti abakungu ba Gavumenti bangi beenyigira mu nvuba embi era nga mu kiseera kino bataddewo amateeka amakakali okusobola okulwanyisa enkola eno kubanga eggwanga lifiirwa ebintu bingi buli lwe wabaawo ebikolwa bwe biti.

“Twabaze etteeka ekkakali ffe ng'aba minisitule y’eby’obuvubi era nga terigenda kutaliza muntu yenna anaasangibwa nga yeenyigidde mu kuwagira envuba embi kubanga tukooye abantu ab’omulugube abaviiriddeko eggwanga lyaffe okufiirwa obutitimbe bw’ensimbi,” Ssempijja bwe yategeezezza.

Yagambye nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng'enkola eno erwanyisibwa okusobola okuzza Uganda ku ntikko naddala mu byenfuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...