TOP

Abataka basomeseddwa ku nnono n'obuwangwa

Added 5th September 2016

Abataka basomeseddwa ku nnono n'obuwangwa

ABATAKA abakulu b’ebika bagambye nti tebagenda kutunula butunuzi ng’ennono n’Obuwangwa bya Buganda byonooneka omuli abazzukkulu obutamanya kussa kitiibwa mu bantu bakulu omuli n'abakulembeze obutatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe.

Omutaka Fredrick Kasibante Kayiira Gajuule bw'abadde ayogerera mu Lukung'aana lwa Bannamawulire e Bulange- Mmengo ategezezza nti bagenda kuteekawo emisomo egy’enjawulo okusomesa abazzukkulu baabwe mu kaweefube w’okutereeza ebyo ebyasoba.

Kayiira Gajuule agambye nti “ Ennono n’obuwangwa bwaffe byetubadde tuwangaaliramu zikyukidde ddala nga walina okubeerawo ekikolebwa okuzza empisa zaffe; okuwa ekitiibwa abantu abakulu, obumu, obwesimbu, obugumikkiriza, ennambika yentambula y’obukulembeze mu Buganda n’ebirala nga bino tugenda kubisomesa mu musomo gwetutegese nga November 11,2016 ku Hotel Africana.

”Omusomo guno guyitiddwa Kiggulaluggi ng’emisomo emirala egy’ekikula kino gigenda kukolebwa okutandika n’omwaka ogujja nga giyindira ku butaka obw’enjawulo.  Omutaka Mbuga Kyadondo ye Muwandiisi w’enteekateeka eno ng’abavunanyizibwa abalala kuliko Omutaka Keeya Namuyimba Ttendo Muteesasira ne Hajj Minge Kibirige Kasujja nga bano bagenda kuyambibwako bazzukkulu baabwe okuli Jonathan Nsubuga nga ye Muwanika w’enteekateeka eno wamu ne Ssalongo Kawuki.

Muteesasira nga yavunanyizibwa ku mawulire mu nteekateeka eno yategezezza nti ensimbi ezigenda okuyingiza abazzukkulu mu musomo guno zaakulangirirwa amangu ddala ate buli kika kyasabiddwa okuleeta abantu abatakka wansi wa 20 mu musomo guno nga bano bebaligenda mu maaso n’okusomesa bannabwe mu bika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...