TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Eyabuuse okuva ku kuzimbe kya Mabiriizi afe alulojja: Yeetondedde nnannyini mmotoka

Eyabuuse okuva ku kuzimbe kya Mabiriizi afe alulojja: Yeetondedde nnannyini mmotoka

Added 6th September 2016

OMUVUBUKA eyabuuse ku kizimbe kya Mabiriizi ne yekkata wansi azze engulu ne yeewuunya engeri gye yawonyeemu!

 Lule ng’ali ne nnyina Namakula ku kitanda. Ku Lule ng’ali ku kizimbe waggulu.

Lule ng’ali ne nnyina Namakula ku kitanda. Ku Lule ng’ali ku kizimbe waggulu.

OMUVUBUKA eyabuuse ku kizimbe kya Mabiriizi ne yekkata wansi azze engulu ne yeewuunya engeri gye yawonyeemu!

Nnyina Amatu Namakula naye atenderezza amaanyi ga Katonda olw’engeri mutabaniwe gye yavudde mu bbanga okwetta kyokka n’amaliriza ng’afunye ebiwundu bitono mu kyenyi n’okumenyeka omukono ogwa kkono.

Omuvubuka ono yategeezezza Bukedde nti ye Mustafa Lule era wa myaka 20.

Yagambye nti aludde ng’atawaana n’ebizibu okutuusa lwe yaweddemu essuubi n’asalawo okwetta, wabula Katonda n’amulaga nti yabadde akola nsobi era kati yafunye essomo, n’ebirowoozo by’okwetta takyabirina.

Lule yagambye nti yagendako ewa nnyina n’amutegeeza ng’ensi bw’emutamye kyokka nnyina n’alowooza nti bya lusaago era bwe yabuliddwa omuntu ategeera embeera gy’ayitamu, kwe kufuna endowooza enkyamu ey’okweggya mu bulamu.

Yagambye nti yakolerako ku Mabiriizi Complex ng’omulimu tegunnaggwaawo era y’ensonga lwaki yasazeewo kwettira ku kizimbe ekyo.

YEEVUMA KITAAWE

Lule yagambye nti akuze ne nnyina nga babonaabona naddala mu by’ensimbi era n’atuuka n’okuwanduka mu ssomero n’atandika okukola wabula n’omulimu gw’okukola mu dduuka gwe yali afunye ne guggwaawo nga mukamaawe agenze ebweru w’eggwanga.

Mustapher Lule ng'apooceza ku kitanda mu ddwaaliro e Mulago oluvvanyuma lw'okwekasuka okuva ku kizimbe kya Mabiriizi Plaza n'agwa wansi .

 

Yannyonnyodde nti mu mbeera gy’abadde ayitamu, ekibadde kisinga okumuluma y’engeri kitaawe Sulaiman Ssebuufu gye yamusuulirira ate nga musajja eyeesobola, alina ssente ezirabirira n’abaana abatali babe.

Ku Lwokutaano, omuvubuka ono yasooka kubuuza madaala gatuuka ku ntikko y’ekizimbe kya Mabiriizi ku Kampala Road era bwe baagamulaga n’ayambuka waggulu, n’aggyamu essaati n’asaba n’essaala olwo ne yeekanyuga ng’akulembezza lubuto.

Wabula yagudde ku mmotoka y’Omuyindi n’egongobala era ky’ekyamuyambye obutasesebbuka.

Omuvubuka ono yasabye abantu okumusonyiwa olw’okugezaako okwetuusaako obulabe era ne yeetondera ne nannyini mmotoka gye yayonoonye.

Nnyina Namakula naye yasabye abazirakisa okumuyamba ajjanjabe mutabaniwe kubanga ategedde ensobi era asobola okubeera ng’ayambiddwa asobola okubeera eky’okulabirako ky’abantu abaweddemu essuubi ababeera baagala okwetta.

Mu kiseera kino baagala emitwalo 45 ez’okukubwa ekifaananyi okuzuula oba akawanga tekaakoseddwa wabula tebazirina. Namakula yasabye abazirakisa okumufunira ku 0792590082.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.