TOP

Owoolubuto asse omwana wa muggya we

Added 7th September 2016

EKIWUNDU ekinene ekyabadde ku mutwe gw’omwana Mbatudde ky’ekyayambye abaabadde banaaza omulambo okutegeera nti yattiddwa buttibwa.

 Mbatudde ng’asala keeki ku mazaalibwa ge omwaka oguwedde. Ku kkono ye Saudah Kalama eyasse Mbatudde.

Mbatudde ng’asala keeki ku mazaalibwa ge omwaka oguwedde. Ku kkono ye Saudah Kalama eyasse Mbatudde.

EKIWUNDU ekinene ekyabadde ku mutwe gw’omwana Mbatudde kye kyayambye abaabadde banaaza omulambo okutegeera nti yattiddwa buttibwa.

Waabaddewo okusika omuguwa nga ‘mukazi-muggya’ Sauda Kalama tayagala banaaze mulambo, kyokka abatuuze nga bakulembeddwa Sheikh Muhammed Mutebi ne balemerako nti tewali ngeri gye bayinza kuziika mwana Musiraamu nga tanaaziddwa ng’amateeka g’Obusiraamu bwe galagira.

Sheikh Mutebi ye yasoose okuzikubamu amakiikakiika nga bw’abuuza nti, “Bannange kiki kino?” Abantu baakuhhaanye okwetegereza omulambo gw’omwana Rehema Mbatudde ow’emyaka esatu, era obwedda buli agulabako ng’avaawo atenda Sauda butemu.

Omumwa gw’omwana gwabadde gwokeddwa, oluba nga luzimbye ate okuva mu kifuba okukkirira, ng’olususu lususumbuse okufaanana omuntu gwe bayiiridde amazzi agookya.

Mbatudde eyatiddwa.

 

Ekyasinze okubakuba ensisi, ky’ekiwundu ekyabadde kikyavaamu omusaayi era bwe baawenjudde enviiri nga balaba ekituli kiyingirira ddala munda.

Kye baafumise omwana mu mutwe tekinnamanyika kyokka abatuuze b’e Kyebando – Nansana mu Erisa Zooni baalumirizza Sauda okutulugunya abaana ba muggyawe emyezi ebiri gy’amaze nabo.

Abatuuze abalala obwedda bayomba nti; Wuuyo ali lubuto, olwo singa owuwe gwe yeetisse, gwe basse? Baayise poliisi eyazze n’eyaza ennyumba omwana mwe yafiiridde era n’ezuula amatondo g’omusaayi wansi mu ddiiro n’amatondo amalala agaasammuse ku kisenge.

Poliisi yatutte omulambo e Mulago okugwekebejja era gye gwasuze.

Sauda Kalama agambibwa okutta omwana

 

TAATA W’OMWANA BIMUSANZE JUBA

Saidi Ssewannyondo yasooka kuwasa Janat Namirembe kyokka ne bafuna obutakkaanya n’asalawo okumugoba era Namirembe n’adda ewa nnyina e Kawempe Ttula.

Baatabuka mu May w’omwaka guno nga Ssewannyondo akomyewo okuva e Juba era ne baawukana mu June, olwo Ssewannyondo ne yeemalira ku Sauda gwe yali afunye ng’amupangisizza e Kyebando -Nansana.

Wadde Namirembe yasaba bba amukkirize anobe n’abaana, omusajja yeerema era n’abasitula n’abatwalira Sauda mu muzigo we yamupangisiza.

Justine Nakatumba anoonyezebwa.

 

Awo we yabalese ku nkomerero y’omwezi oguwedde, n’addayo e Juba era eby’okufa kwa muwalawe gye kwamusanze.

Namirembe obwedda akaaba yeekokkola bba okumulemesa okunoba n’abaana be okukkakkana ng’omu afudde ate owookubiri baamukebedde nga naye aliko emisale n’ebiwundu ku mubiri ne mu bitundu eby’ekyama.

Abamu ku batuuze abaliraanye omuzigo Sauda mw’abadde abeera baalumirizza nti babadde bawulira abaana nga bakaaba nnyo naddala ekiro, ng’omukazi abakuba ekisukkiridde.

Namirembe yagambye nti ku Ssande akawungeezi, yafunye ebisulo era omutima ne guddukira ku baana.

Ssewanyondo ng’ali n’omu ku baana be.

 

Yakubye essimu za bba nga teziriiko, n’akubira mulamuwe Robert Mugwanya ng’ayagala amuyambe ayogereko n’abaana ku ssimu kyokka n’amutegeeza nti aleme kweraliikirira abaana bali bulungi wadde nga kitaabwe yaddayo e Juba.

Yaguddewo ekigwo ate enkeera ku Mmande, Mugwanya bwe yamukubidde ng’amutegeeza nti omwana Mbatudde afudde! Sauda bwe yalabye abatuuze batabuse n’adduka era poliisi yagenze okutuuka nga yabuzeewo dda.

Poliisi era eyigga ne Nnyazaala Justine Nakatumba (Maama wa Ssewanyondo) agambibwa nti yabadde 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...