TOP

Ente za Museveni bazibbye

Added 8th September 2016

Ente za Museveni bazibbye

 Abasajja abaakwatiddwa nga bali ku poliisi e Gomba.

Abasajja abaakwatiddwa nga bali ku poliisi e Gomba.

POLIISI y’e Gomba ekutte abasajja bana ababbye ente ku ffaamu ya Pulezidenti Museveni e Kisozi omu ku bo nga mukozi ne yeewozaako nti, obwavu buyitiridde era bwe bumubbisa.

Abakwate kuliko; James Mwesigye 32 ng’ono mukozi ku ffaamu eno, Haruna Ssekandi 19, ne Shakuru Ndawula ab’e Kajumiro - Maddu ne Yunusu Ndawula ow’e Kakoma mu ggombolola y’e Kabulassoke.

Baakwatiddwa n’ente 4 nga bazitwala mu katale k’e Kifampa okuzitunda. Mwesigye ng’atuusiddwa ku poliisi y’e Kanoni yakkirizza omusango n’agamba nti, obwavu bumuli bubi kwe kusalawo okubba amalirize ebizibu bye era n’awolereza Shakuru Kalanzi ne Yunusu Ndawula nti tebalina musango kubanga babadde baweereddwa mulimi gwa kuzigoba kuzituusa mu katale e Kifampa.

Ategeezeza nti olukwe lw’okubba ente zino baalubaddemu ne Haruna Ssekandi gye baasoose okuzikweka oluvannyuma Kalanzi ne Ndawula gye baziggye bazitwale mu katale ne babakwata.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Gomba, Doreen Kakyo agambye nti, abakwate bonna bagguddwaako emisango gy’okubba ente ku fayiro nnamba CRB:719/2016 era bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...