TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamulumirizza okutta bba gw'amaze naye emyaka 10

Bamulumirizza okutta bba gw'amaze naye emyaka 10

Added 8th September 2016

Bamulumirizza okutta bba gw’amaze naye emyaka 10

 Namukabire ng’ali ne bba Wamwine.

Namukabire ng’ali ne bba Wamwine.

PAASITA Dawson Hafuswa Namukabire awadde bba Richard Wamwine gw’amaze naye emyaka 10, obutwa obumusse.

Kigambibwa nti Namukabire okuwa bba obutwa kiddiridde bba okugula ettaka n’agaana okuliwandiisa mu mannya g’omwana we (Namukabire) n’alissa mu mannya ga muggya we.

Abavuzi ba bodaboda ababadde bakola ne Wamwine ku siteegi y’e Nakavule e Buseyi mu Munisipaali y’e Iganga ng’eri kumpi n’awaka w’omugenzi, olutegedde ku ttemu lino ne balumba Namukabire okumutta kyokka abantu abaabadde mu lumbe ne bamutaasa.

Bagamba nti abadde ababuulira nti omukazi amwewerera okumutta ng’okufa kwe babadde bakusuubira. Poliisi yayitiddwa mu bwangu n’etaasa Namukabire n’emutwala okumukuuma.

Budhugo Ntale, omumyuka wa ssentebe wa bodaboda ku siteegi omugenzi kw’abadde akolera nga ssentebe w’ekibiina, yagambye nti Namukabire teyababuulidde kyabadde kituuse ku mugenzi era yagenze okubategeeza ng’ali mu mbeera mbi era n’afa nga baakamanya. Namukabire, eyasangiddwa ku poliisi yategeezezza nga bw’atawadde bba butwa nga bwe bagamba n’agamba nti omugenzi yafudde agamba nti omutima gumuluma. Yagambye nti ebimwogerwako bigenderera kwonoona linnya lye kuba tayinza kutta musajja gw’amaze naye emyaka 10 ng’amulinamu n’abaana.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu bya Busoga East, James Mubi yategeezezza nti Namukabire akuumirwa ku poliisi era n’ategeezza nti bajja kubeera naye okutuusa ng’embeera eteredde ku kyalo. Mubi yategeezezza nti poliisi ejja kugenda mu maaso n’okunoonyereza ekyasse omugenzi era n’alabula abatuuze okwewala okutwalira amateeka mu ngalo.

Omulambo gwa Wamwine gukyali mu ggwanika ly’eddwaaliro ly’e Iganga nga bagwekebejja okuzuula ekyamusse n’oluvannyuma baguwe abooluganda baziike. Aba bodaboda baatabukidde kitaawe w’omugenzi ne bamuwujja n’empi bwe yabadde agaana abasawo okukebera omulambo gwa mutabani we. Baamugobye mu ddwaaliro ne bamulagira omulambo okugulindirira mu maka ge e Nakalama omugenzi gy’agenda okuziikibwa.

Baagambye nti tebayinza kuziika munaabwe nga tebasoose kuzuula ekyamusse. Baaweze nga bwe bajja okulondoola omusango guno okutuusa ng’abasse munnaabwe bavunaaniddwa. Basaba poliisi okukola omulimu gwayo obulungi basobole okuzuula ekituufu ekyasse omuntu waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...