
Kakeeto mu kusaala
SHEIKH Sulaiman Kakeeto akulira abatabuliki asabye abakyala abasiraamu okuwagira abasajja baabwe okufunayo abakyala abalala kuba tekirimu buzibu n'abasaba okukomya okutulugunya ba yaaya kuba nabo bantu ate basobola okufuuka baggya baabwe .
Kakeeto asinzidde mu kusaazisa Idi ku ssaawa ya Kwiini n'ategeezezza nti abakazi bangi Abasiraamu balina obuggya naye balina n'okuwagira abasajja baabwe okufunayo omukazi omulala singa kiba kyetaagisizza.
Kakeeto asabye Abasiraamu okusala ebisolo mu mateeka ga Quran so si kusalira lubaale waabwe n'ebyawongo.