TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nankindu Kavuma ayogedde ku kitongole ekikuba ebigezo bya Buganda

Minisita Nankindu Kavuma ayogedde ku kitongole ekikuba ebigezo bya Buganda

Added 12th September 2016

Minisita Nankindu Kavuma ayogedde ku kitongole ekikuba ebigezo bya Buganda

 Minisita ng'akwasibwa ebigezo ebitegekebwa Buganda examination Council

Minisita ng'akwasibwa ebigezo ebitegekebwa Buganda examination Council

MINISITA Omubeezi ow'ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti ebigezo ebitegekebwa ekitongole ky'Obwakabaka ekya Buganda Examination Council si bya Buganda yokka wabula n'amasomero agava wabweru wa Buganda gasobola okubyeyambisa okugezesa abayizi baago.

Bino yabyogeredde ku mukolo abagenda okugolola ebigezo ebyategekebwa ekitongole kino kwe bakwasiriddwa ebigezo ogwabadde ku Lubiri High School- Lower Campus mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.

"Musaanye okugolora ebigezo bino ebya 'Mock' mu budde ate mwolese obwenkanya kubanga omulimu guno gwe mukola gwa muwendo mu kutumbula eby'enjigiriza mu ggwanga."  Siraj Zaake nga ye mukwanaganya omukulu ow'emirimu gya BECO.

Yategezezza nti abasomesa 92 bebayunguddwa okugolola ebigezo bino okuva ku 64 abaakola omwaka oguwedde nga kino kizzeewo oluvannyuma lwokwongerako ebigezo bya S6.

Zaake yakubirizza abagolozi bano okukola omulimu guno gusobole okuweebwawo eri Minisita nga September 30,2016.

Ye Immaculate Nampijja ng'ono ye Mukulu w'essomero Lubiri HS yategeezezza nti okweyongera kw'abayizi wamu n'abagolozi kiraga nti ebigezo ebyakamala emyaka mwenda nga bigezesa aba P7,S4 ne S6 kati, nga bwe byongedde okuganja mu by'enjigiriza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.