
ABASUUBUZI abatundira mu butale bw'oku Kaleerwe bakukkulumidde abawalabu okupaaza embeeyi y'ebintu bya Eid ekibaviiriddeko obutafuna baguzi olwaleero.
Yadde ng'eno Eid yakusala bisolo naye ebintu bingi ebbeeyi yaabyo yapaaziddwa olw'abawalabu abaagulidde abanaku n'emizikiti egy'enjawulo ebisolo ne mmere nga kino kyaviiriddeko abasuubuzi nabo okuwanika ebbeeyi y'ebintu ssaako abasuubuzi abamu okufiirwa ne batafunamu nga bwe kyabadde kisuubirwa.
Sulaiman Ssekannyo akulira abasuubuzi mu lufula Nsooba slaughter House ategeezezza nti ku luno ekiviiriddeko ente n'embuzi okuseerebwa be bawalabu obwedda abagulira ku bbeeyi eyawagulu n'abasuubuzi ne bawalirizibwa okuwanika ebbeeyi.
Agasseeko nti ng'oggyeeko eby'Abawalabu wabula n'omusana gukyali mungi mu bitundu awalundirwa ebisolo kino nakyo kitaataganyizzaamu ku bbeeyi y'ebisolo.
"Omusana mungi guviiriddeko abasuubuzi okusuubula ebisolo mu byalo ku buseere nga nabo babadde balina kwongera ku bbeeyi okulaba nga baggyayo ssente zaabwe kuba ku EId eyaggwa mu lufula twalinamu embuzi eya 100000/ naye ku luno tekyasobose" Ssekannyo bwe yategeezezza .
EMBEEYI Y'EBINTU MU LUFULA
Ente ennamba etandikira ku 800,000/ okudda wagulu Embuzi esokerwako ya 150,000/ okudda wagulu, kkiro ye nnyama ng'ogiguze mu Lufula ensava ya 8500/ etali nsava 6500/ Ekibumba mu lufula kiro ya 12,000/ Ebyenda mu lufula kkiro 3000 -4000/ Kkiro ye nnyama ye Mbuzi mu Lufula eri 12000/ BUTCHER
MU KAWEMPE MU BITUNDU EBYNJAWULO
Bwaise ,Mpererwe, Wandegeya , Kaleerwe , Makerere, Kawempe ku ttaano, Kawempe Mbogo , Kyebando , Kanyanya kkiro y'ennyama eri ku 10,000/-11000/ abamu bagitunda 12,000/ kkiro y'ebyenda eri 5000/ -6000/ Ekibumba 15000/-16000/ Kiro y'ennyama ye Mbuzi eri 15000 okudda wagulu .
EBINTU EBIRALA
Enkoko enganda 35000/ -40000/ Enkoko enzungu esookerwako 15000/ okutuuka 55000/ Ettooke erisookerwako 25,000/ okutuuka 60,000/ Emyeera 7 bagitunda 1000 waliwo n'omulengo ogutandikibwako gwa 3000/ Ennyanya akataasa ka 2000 okudda wa gulu Emboga etandikira ku 2000 okutuuka ku 3000/ Kaloti 4 bazitunda 1000/ Obutungulu buli 2000 -5000/
Entula 1000 okudda wagulu Galiki 2000/ Ebijanjaalo ebibisi ekikopo kya 2000/ Kawo omubisi ekikopo kya 3000 Obutunda 5 babutunda 1000/ Emicungwa 7 bagitunda 1000/ Mangada 8 bamukuguzza 1000/ Muwogo omulengo gwa 3000 okudda wagulu