TOP

Msgr. Jjumba alumbye abayivu abeerabira Katonda

Added 13th September 2016

Msgr. Jjumba alumbye abayivu abeerabira Katonda

 Msgr. Jjumba (ku kkono) ng’atongoza akatabo akakwata ku bulamu bwa Fr. Kisekka. Ku ddyo ye Fr. Maviiri.

Msgr. Jjumba (ku kkono) ng’atongoza akatabo akakwata ku bulamu bwa Fr. Kisekka. Ku ddyo ye Fr. Maviiri.

Viika Genero w’essaza ly’e Masaka, Msgr. Serverus Jjumba anenyezza abayizi abamu n’abasomesa abeerabira Katonda amaanyi ne bagazza ku kunoonya amagezi ag’ensi.

Yategeezezza nti mu mbeera yonna, omuntu tasaanye kuva ku Katonda. Bino yabyogeredde mu mmisa gye yasomedde mu Uganda Martyrs’ University, Nkozi wiiki ewedde abayizi n’abasomesa bwe baabadde basabira omwaka gw’ebyenjigiriza omuggya gwe baatandise.

Amyuka cansala wa Yunivasite eno, Polof. Fr. John Chrysestom Maviiri yasabye abayizi okubeera abayonjo n’okwambala obulungi.

Baasabidde n’omwoyo gw’omugenzi Fr. Joseph Kisekka, eyali akulira ebyensimbi mu Yunivasite eno. Oluvannyuma Msgr. Jjumba yatongozza akatabo akakwata ku bulamu bw’omugenzi akaawandiikiddwa Polof. Spire Ssentongo, omusomesa mu Yunivasite eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wakula ng' asembeza Abakrisitaayo mu kusaba.

Omulabirizi wa Central Buso...

OMULABIRIZI wa Central Busoga  akungubagidde abadde Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde...

Omugenzi Ssaabasumba Cyprian  Lwanga.

Mmanyi Lwanga okuva obuto -...

FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret...

Omugenzi Ssaabasumba

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe...

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles...

Omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga

Yiino pulogulaamu y'okuziik...

1. Mmande - Mmisa e Lubaga ku ssaawa munaana ez'olweggulo 2. Lwokubiri - omulambo gutuuka e Kyabakadde ku ssaawa...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Abasawo 7 be beekebezze omu...

OMULAMBO gwa Dr. Cyprian Lwanga gukebeddwa abasawo abakugu musanvu abakoze lipoota ku kyamusse. Yasangiddwa...