TOP

Ab'e Ssaabagabo Lufuka bakiise e Mmengo

Added 13th September 2016

Ab’e Ssaabagabo Lufuka bakiise e Mmengo

 Kawuki (mu gaalubindi) nga yeebaza Kiribwa Mukasa eyakulembeddemu abatuuze okuleeta Amakula.

Kawuki (mu gaalubindi) nga yeebaza Kiribwa Mukasa eyakulembeddemu abatuuze okuleeta Amakula.

MINISI TA Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki agambye nti ennono ya Buganda ffenna gye twenyumirizaamu eri nti buli kyonna kye tukola tukikola ku lwa Kabaka ate Kabaka buli kyakola akikola ku lw’abantu be. Agamba nti buli maka galina okubeera n’ennimiro ya Kabaka.

Bino yabyogeredde Bulange - Mmengo ku mukolo abatuuze b’eggombolola Ssaabagabo Lufuka kwe baaleetedde amakula ga Kabaka wiiki ewedde.

Baakulembeddwa akola nga Omwami w’eggombolola eno Kiriibwa Mukasa ng’ali wamu ne Meeya wa Munisipali eno, Gerald Lumbuye.

Baaleese ente ssatu, embuzi musanvu, enkoko 27, ssekkokko, enkota z’amatooke 28, ensawo z’omuceere 11, eza ssukaali ttaano n’ebirala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...