TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bamuttidde ku kyeyo e Turkey nga nnyina awulira ku ssimu

Bamuttidde ku kyeyo e Turkey nga nnyina awulira ku ssimu

Added 16th September 2016

OMUWALA yabadde ayogera ne nnyina ku ssimu n’awulira abakonkona; teyategedde nti yabadde alumbiddwa batemu abaamusse!

 Ennyumba abaana gye babadde bazimbidde nnyaabwe e Nabalanga - Nakifuma. Mu katono ku ddyo, Viola Nantaba gwe baggunze ku bisenge n'okumufumitafumita ebiso ebyamusse.

Ennyumba abaana gye babadde bazimbidde nnyaabwe e Nabalanga - Nakifuma. Mu katono ku ddyo, Viola Nantaba gwe baggunze ku bisenge n'okumufumitafumita ebiso ebyamusse.

OMUWALA yabadde ayogera ne nnyina ku ssimu n’awulira abakonkona; teyategedde nti yabadde alumbiddwa batemu abaamusse!

Viola Nantaba baamuttidde ku kyeyo e Turkey (Butuliiki) era abatemu baamusanze mu nnyumba mw’abadde abeera ne mutoowe Sherina Nakafeero.

Nantaba ne Nakafeero babadde baakaddayo ku kyeyo era baalese bazimbidde nnyaabwe Beatrice Babirye ennyumba e Nabalanga mu Nakifuma disitulikiti y'e Mukono nga bamugulidde n’emmotoka.

Baalese baguze ne poloti mwe babadde bategese okuzimba ennyumba z’abapangisa olwo ne baddayo okunoonya ssente.

BAMUSSE NNYINA AWULIRA

Emboozi ya maama ne muwala we yabadde yaakatuuka wakati, Nantaba kwe kuwulira abakonkona, era omuwala ky’ava agamba nnyina nti; “Maama sigalako (ku ssimu), nsooke ndabe ono atukonkona.

” Omuwala yabadde alowooza nti amukonkona ali omu, wabula olwaggudde oluggi, agasajja ne geesogga ennyumba.

Gaatandikiddewo okukuba

Nantaba era essimu gye yabadde akutte mu ngalo n’ewandagala eri. Wabula essimu yasigaddeko era obwedda maama awulira ebigenda mu maaso. Nantaba obwedda buli lw’alaajana, nga maama amaziga gamuyitamu!

Omuwala yasoose kulaajana mu Luzungu nti, “Leave me alone…” (Ndeka nze…); kyokka amaanyi bwe gaagenze gakendeera n’atandika n’okulaajana mu Luganda nti, “Temunzita..” wadde nga be yabadde alwogereramu baabadde tebaluwulira.

Maama bakira ayita, “Hallo, Hallo…; Nantaba…, Nakafeero….” Naye nga teri ayanukula, okuggyako okuwulira okulaajana n’ebintu ebiggundibwa ku bisenge. Oluvannyuma lw’ekiseera, essimu yavuddeko; olwo Babirye (maama) n’asigala mu ssaala nga yeegayirira Katonda ataase abaana be mu bulabe bwe baabaddemu.

Nakafeero naye baamukubye n’okumusogga ebiso naddala ku mutwe ne mu kifuba era baamukomezzaawo okumujjanjabira wano.

Nakafeero yatandise okwogera era yattottodde engeri gye baalumbibwa n’ategeeza nti ensonga zaakwasiddwa poliisi y’e Turkey okukwata n’okuvunaana abazigu abasse mukulu we Nantaba n’okutuusa ku Nakafeero ebisago eby’amaanyi.

Omulambo gwa Nantaba gwakomezeddwaawo era gwabaddeko ebiwundu by’ebiso mu bulago, ku mutwe ne ku bisambi byombi era nga guwulubadde n’okuzimba kubanga obwedda bamufumita bwe bamuwumiza ku bisenge.

Awo maama we yakitegeeredde nti bye yabadde awulirira ku ssimu nga bikoona ebisenge, baabadde baana be nga be baggunda ku bisenge! Babirye - nnamwandu wa Kiggundu Pinto (eyali omugagga w’e Nakifuma) yasigadde mu nnaku etalojjeka.

Yategeezezza Bukedde eggulo nti tamanyi kiddako kubanga abaana abo okuva lwe baatandika okukola, be babadde bamulabirira n’okumujjanjaba ng’alwadde.

Kiteeberezebwa nti abasse Nantaba n’okutuusa ebisago ku Nakafeero baabadde bazigu abaabadde bajjiridde okunyaga era ebimu ku bintu by’omu nnyumba okuli ne ssente baagenze nabyo.

Nantaba yalese omwana omu Fahad Nsiko abadde abeera ne jjajjaawe Babirye e Nakifuma. Baamuziise Nabalanga ku kiggya we baaziika kitaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...